PULEZIDENTI Museveni asiimye omumyuka w’ebyamawulire mu ofiisi ye, Hajji Farouk Kirunda olw’engeri gy’atambuzaamu emirimu naddala okumanyisa abantu ebikoleddwa gavumenti ng’ayita ku mikutu gy’ebyempuliziganya egyenjawulo.
Era yamukulisizzaayo mu lugendo Olutukuvu e Mecca ne Madina. Mu ngeri yeemu yamukubagizza olw’okufiirwa mukyala we, omugenzi Gladys Aliyinza, eyaziikiddwa ku kyalo Lambaala mu disitulikiti y’e Luuka.
Mukyala wa Kirunda yafiira mu kabenje, mmotoka ekika kya kabangali UG4654 C, mwe yali bwe yatomeragana ne loole y’ebikajjo nnamba UAU 073G mu Bukoova mu Town Council, ku luguudo oluva e Kamuli okudda e Kaliro, abantu babiiri ne bafiirawo. Obubaka bwa Pulezidenti yabutisse omumyuka we Rtd.
Maj. Jessicca Alupo, ku mikolo Hajji Kirunda kwe yeebalizza Allah okumukomyawo emirembe okuva e Mecca. Museveni yasuubizza obuyambi, eri amaka ga Hajji Kirunda, omuli n’okusomesa abaana be.
Katuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala, yatumye Alupo ajjukize Museveni bye yasuubiza Busoga, omuli okukola oluguudo oluva ku Ambercourt okutuuka e Bukungu.