Lukia Nakadama asabye bannayuganda okkozesa obulungi ettaka n'embeera y'obudde okulima emmere emala

OMUMYUKA wa katikiro wa Uganda ow’okusatu Hajjat Lukia Isanga Nakadama akubirizza Bannayuganda okukozesa obulungi ettaka lye balina okulima emmere emala okusobola okuliisa abantu baabwe n’okusitula eby’enfuna bya maka gaabwe.

Nakadaama
By Nsimbi Ponsiano
Journalists @New Vision
OMUMYUKA wa katikiro wa Uganda ow’okusatu Hajjat Lukia Isanga Nakadama akubirizza Bannayuganda okukozesa obulungi ettaka lye balina okulima emmere emala okusobola okuliisa abantu baabwe n’okusitula eby’enfuna bya maka gaabwe.
Bino yabyogeredde mu kuggalawo ttabamiruka w’omulundi ogw’okusatu akwata ku by’emmere n’endiisa amaze ennaku ttaano nga gu bumbujja ku woteeri ya Mestil mu Kampala.
Yakubirizza ba maama ab’embuto okufaayo ennyo ku bika by’emmere bye balya okusobola okuzaala abaana abalamu obulungi ate n’okufaayo ennyo okuwa abaana baabwe emmere ezimba emibiri baleme okukonziba.
Yategeezezza nti waliwo obwetaavu bw’okusomesa abantu okukyusa endowooza zaabwe n’endaba y’ebintu okusobola okulwanyisa endya embi naddala mu baana.
Kyokka ono yalaze obwetaavu bw’okwongera ku bakungu mu by’endisa okulaba nga bayamba abantu abakola emmere okwewala emmere ewoomerera ennyo gyagamba nti evudde ebizibu bingi naddala omugejjo mu baana ekivuddeko endwadde okweyongera.
Nakadama yasabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okukwatizaako gavumenti okulaba nga bantu bafuna okumanyisa ku bukulu bw’okubeera n’emmeere emala n’endya ennungi.
Dr.Mohamed Munir A.Safieldin omubaka wa Unicef mu Uganda yalaze ebintu gavumenti byerina okussako amaanyi bweba yakumalawo ekizibu kye ndya embi mu ggwanga okuli ,okuli okusomesa abantu obukulu bwendya ennungi okwongera ku bungi bwe mmeere n’ebifo omuterekebwa emmeere.