ENDOOLIITO z’ettaka mu disitulikiti y’e Kyankwazi ku bagagga abatulugunya abatuuze ziwalirizza minisita omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja okulagira omu
ku mugagga abadde asusse okuliisa abatuuze akakanja okukwatibwa n’abalala n’alagira DPC bayiggibwe nabo bakwatibwe.
Mayanja yabadde awerekeddwaako omuyambi wa Pulezidenti, Phiona Barungi nga mu lukiiko lukung’aana luno mwabaddemu Hajji Hamim Sentongo eyakiikiridde Ssentebe wa disitulikiti, amyuka RDC, Perusi Kabaale Sekandi ne DPC Emmanuel Arinaitwe.
Mayanja yasookedde ku kyalo Kanyogogga mu ggombolola y’e Wattuba gye yasanze abatuuze abasoba mu 200 nga balumiriza omugagga Munvaneza Paul Kakwaya okubatulugunya n’atuuka n’okumenya ekkanisa so nga n’essomero lya St. Jude Kannyogoga P/S terikyasomesa.
Ettaka lino liriko yiika 600 nga litudde ku block nnamba 678. Ssentebe w’e Kannyogoga, George Lukwago n’abatuuze baasiimye minisita Mayanja ne bagamba nti, baakusulako mu mayumba gaabwe kuba babadde bali mu kutya okususse. Lukwago
yagambye nti, engeri Munvaneza gye yagulamu ettaka lino tagimanyi wabula yava gy’avudde n’agamba nti, awo we bali wuwe.
Phiona Barungi, yagambye nti, kati amaanyi bagenda kugassa mu kkooti okulondoola emisango gye baawaabira abatuuze kuba kyazuuliddwa nti, poliisi esusse okubakwata awatali musango. Yalabudde DPC Arinaitwe okukoma ku baserikale be.
Oluvannyuma lwa Munvaneza okukwatibwa, abatuuze baajaganyizza nga bagamba nti, baakufuna ku tulo. Mayanja era yagambye nti, tewali akkirizibwa kugoba wa kibanja ku ttaka. Olwavudde eno, minisita yeeyongeddeyo ku kyalo Kabaale mu ggombolola y’e Banda gye yasanze abatuuze abasoba mu 250 nga nabo omugagga Dr. Turaikayo Jesse Lwakeiru ne mutabani we Richard Tugume babatigomya ku ttaka lya Gavumenti eriwezaako sikweya mailo 5.
Abatuuze abaakulembeddwaamu Ssentebe w’ekyalo kino Issa Mugerwa baabuulidde minisita Mayanja obulumi bwe bayitamu ku ttaka lino nga omuntu agamba nti, lilye, yabasangako n’atandika okubakolako effujjo