Minisita Kyewalabye agumizza abantu ba Kabaka ku Masiro g'e Kasubi

Minisita w'ebyokwerinda embiri n'amasiro e Mmengo David Kyewalabye Male agumizza abantu ba Bugamba ku mbeera amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gye galimu kati n'agamba nti wegali gawedde.

Minisita w'ebyokwerinda embiri n'amasiro e Mmengo David Kyewalabye Male
By Lilian Nalubega
Journalists @New Vision
"Mu bbanga lya myezi mitono ddala tugenda kuba nga tugaggyeko engalo era nga gakwasiddwa nnyinigo mu kitiibwa" Kyewalabye bwe yagambye.
 
Yabadde atangaaza ku mulimu gw'okuzimba Amasiro g'e Kasubi we gutuuse abangi gwe babadde balowooza nti tegukyassibwako mulaka.
 
Yagambye nti emirimu eminene egyali gyeraliikiriza omwali okusereka, okusiba ebizizi n'ebirala gyaggwa dda nga kaakati ekisigadde kwe kuteekamu ebikozesebwa mu kuzikiriza omuliro, okussaamu amataala n'ebintu ebirala eby'okwewunda okuggyayo amakulu g'ekifo kino.
 
"Mu February w'omwaka guno tusuubira ekibinja ky'abakungu ba UNESCO okuggya kuno beekebejje omulimu guno wegutuuse omulundi gwabwe ogusuubirwa okuba ogusembayo olwo n'emirimu egibadde gisigaddeko emitonotono nagyo gikolebwe era gaggwe.
 
Tewakyali kubuusabuusa nga nze nvunaanyizibwa ku Masiro omulimu gwo weguli guwedde. Kyensaba bwe buwagizi okuva mu bantu ba Kabaka ffenna twongere n'okuba obumu" bwe yakkaatirizza.