MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja atenderezza Pulezidenti Museveni olw’okussa ekitiibwa mu buwangwa bwa Buganda ’atuuka n’okuwaayo obuwumbi bubiri ziyambe okumaliriza Amasiro g’e Kasubi.
Mayanja yasinzidde mu pulogulaamu ya Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ekubirizibwa Terah Kaaya.
Yagambye nti, ekikolwa kya Pulezidenti okusindika Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso n’atwala ssente zino mu Masiro e Kasubi kyabadde kinene. Amasiro gano makulu nnyo eri Abaganda kuba we wagalamidde Bassekabaka ana okuli; Muteesa I, Mwanga,
Daudi Chwa ne Edward Muteesa Walugembe II.
Ate nga Edward Muteesa okwawukanako ng’abalala ye Pulezidenti wa Uganda eyasooka, Museveni gw’atayagala kubeera mu mbeera etamuweesa kitiibwa.
Kuno bw’ogattako obuwumbi 58, Pulezidenti ze yasoose okuwaayo okuzimba ekizimbe
ky’Abataka, kiraga omuntu amanyi Abaganda bye baagala kuba toyinza kubaawula na Bika byabwe.
Mayanja agamba nti, Abataka babadde basaale okumala ekiseera kuba be baakuliramu
olukiiko lwa Supreme Council abaakulira okuteesa ku ‘BYAFFE’ nga baakulirwa omutaka Nadduli Kibaale.
“Wadde Abaganda basiima, kyokka Mmengo, Pulezidenti ne bw’abakolera ki tebayinza
kuvaayo ne bamusiima mu lwatu okumanya abantu abo bazibu,” bwe yagambye.
OKULWANIRIRA ABEEBIBANJA
Mayanja yagambye nti, Pule- 8 Bukedde Lwakubiri August 19, 2025 AMAWULIRE Minisita Mayanja zidenti okuvaayo n’alwanirira ab’ebibanja abagobaganyizibwa ku
ttaka, kabonero akakakasa nti, alumirirwa Omuganda owa wansi kuba be basinze okutulugunyizibwa.
Ng’oggyeeko amateeka agakuumira oweekibanja ku ttaka, waliwo n’ebiragiro Pulezidenti by’azze ayisa ng’okugaana okusengula omuntu yenna ku ttaka ne bwe wabeerawo ekiragiro kya kkooti, okutuusa ng’olukiiko olufuga ebyokwerinda mu disitulikiti olukubirizibwa RDC lukkirizza. Balina okukwatagana ne minisita w’ebyettaka.
Olw’okuba ekintu kyonna ekikontana ne Ssemateeka wa Uganda kibeera kifu, tewali muntu akkirizibwa kusengula muntu yenna ku ttaka era omuntu bw’agula ettaka okuli abeebibanja akimanye abeera aguze mpewo. Waliwo abakolagana n’aba LC ne batandika okugobaganya abantu nga beerimbika mu kugamba nti, bakkiriziganya n’agamba nti, ebyo byonna bimenya mateekaKino era bwekiri ne ku bantu abajja nga basala ebibanja ku bantu mbu basobole okubafunira ebyapa n’agamba nti, nagwo musango. Minisita yagambye nti, embeera yagisanze e Rakai gye yabadde bwe yasanze ng’abantu baajingirira emikono ku kyapa. Mu kiseera kino ng’eggwanga ligenda mu kulonda,m Mayanja yasabye abantu okwongera okusiima Pulezidenti Museveni kuba eddembe lino
JOSEPH INNOCENT SSENFUMA
lyonna lye balina mu kiseera kino, y’alireese.