Bya Meddie Musisi
DJ Tonny Mbaziira ow’Ebinyaanyanyaanya asiibuddwa okuva mu ddwaliro e Nakaserokyokka abasawo ne bamuteekako amateeka amakakali.
Omu ku mikwano gya Mbaziira yategeezezza omusasi ono nti mu bukwakkulizo mulimu; okumala ebbanga nga takola mulimu gwonna okutuusa nga bbo (abasawo) bamulagidde okuddamu okukola.
Bamuwadde amagezi obutapapira kikolwa kya kwegatta mangu olw’obuvune bwe yafuna ku mugongo era alina kusooka kudda mu ddwaaliro olwo ne baddamu okumwekebejja.
Ate ye Aida Mugo bwe yabadde naye mu mmotoka ne bagwa ku kabenje e Kyalusowe bwe baabadde bagenda ku kivvulu e Masaka abasawo bakyamusigazza okwongera okumwekebejja.
Bano bombi bwe baafunye akabenje e Kyalusowe ku lunaku lwa Ssande baddusiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka gye baasoose okufuna obujjanjabi obusookerwako kyokka oluvanyuma baggyiddwaayo abantu baabwe ne babongerayo mu ddwaliro e Nakasero.
Mugo yategeezezza eggulo mu ddwaaliro e Nakasero nti wadde tawulira bubi nnyo mu kiseera kino kyokka abasawo baamuwadde amagezi agyira abeerawo nga bwe bongera okumwekebejja.