Engeri basawo gye baalwanye okutaasa Mbaziira Tonny

ABASAWO mu ddwaaliro e Masaka ne Nakasero balwanye okutaasa obulamu bwa Mbaziira Tonny ow’ebinyaannyaanyaannya n’omuyimbi Aidah Mugo abaagudde ku kabenje.

Omubaka Geoffrey Lutaaya ne mukyala we Irene Namatovu nga bali ne Mbaziira Tonny mu ddwaaliro
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#abasawo #okulwana #okutaasa #Mbaziira Tonny

Bya Meddie Musisi

ABASAWO mu ddwaaliro e Masaka ne Nakasero balwanye okutaasa obulamu bwa Mbaziira Tonny ow’ebinyaannyaanyaannya n’omuyimbi Aidah Mugo abaagudde ku kabenje.

Mbaziira ne Mugo bwe baafunye akabenje ku Ssande e Kyalusowe e Masaka, baddusiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka abasawo gye baakoledde buli ekisoboka okutaasa obumu bwabwe.

Abasawo abakugu ku biwundu ebinene mu ddwaaliro lino bakira beetala nga nnamutale omunyageko ente era baasoose kubalongoosa ebiwundu bino eby’amaanyi bye baafunnye.

Oluvannyuma lw’okufuna obujjanjabi obusookerwako abantu baabwe baabasabye ne babatwala mu ddwaaliro e Nakasero gye baabatuusiza ku ssaawa nga mukaaga ez’ekiro kya Ssande.

Akabenje bombi baakafunye bagenda mu kivvulu e Masaka.

Mugo eyasangiddwa ng’afuna obujjanjabi e Nakasero, yategeezezza nti kati alina enjawulo ya maanyi. Mugo yasambazze ebyasoose okufulumira ku mikuttu gya sosolomediya nti yakutuse amagulu gombi. Yagambye nti wadde yafunye ebisago eby’amaanyi, nti naye amagulu tegaakutuse nga bwe byasoose okusaasaanyizibwa.

Mbaziira Tonny yategeezezza nti wadde akyawuliramu okulumizibwa munda, nti naye alinawo enjawulo ya maanyi.

Yagambye nti baayambiddwa nnyo kubanga baabadde tebadduka we bafunidde akabenje, osanga bandiyisiddwa bubi nnyo.

Abayimbi ne bannakatemba abenjawulo ssaako ba DJ abaweereza ku leediyo ez’enjawulo eggulo baagenze e Nakasero okulaba ku Mbaziira Tonny ne Mugo. Geoffrey Lutaaya ne mukyala we Irene Namatovu abaaliko bakama ba Mugo be bamu ku bayimbi abaagenze mu ddwaaliro e Nakasero okubalabako.