Madaada owa NUP bamukwatidde ku nsalo

‘KOMANDA’ wa NUP, Saudah Madada bamukwatidde ku nsalo e Busia ng’agenda Kenya ne bamuwalaawala ppaka ku poliisi y’e Wandegeya gye bamugattidde ku Waiswa Mufumbiro ne basimbibwa mu kkooti y’e Kanyanya.

Omuserikale w’amakomera ng’asindika Mufumbiro okuyingira mu kaduukulu oluvannyuma lw’okuggyibwa mu kkooti okusomerwa emisango ne munne Madaada ne basindikibwa mu kkomera e Luzira.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

‘KOMANDA’ wa NUP, Saudah Madada bamukwatidde ku nsalo e Busia ng’agenda Kenya ne bamuwalaawala ppaka ku poliisi y’e Wandegeya gye bamugattidde ku Waiswa Mufumbiro ne basimbibwa mu kkooti y’e Kanyanya.
Ababiri bagattiddwa ku ba NUP abaasooka okukwatibwa okuli; Achileo Kivumbi, Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe, Tasi Calvin amanyiddwa nga Bobi Giant, Yasin Nyanzi, Edwin Sserunkuma eyeeyita Eddy King Kabejja, Toney
Kaweesi ne Sharif Lukenge.
Abavunaanibwa bagguddwaakoomusango gw’okukola paleedi emenya amateeka, mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento e Kanyanya, Damalie Agumasiimwe
ENGERI GYE BAAKWATIDWA
Saudah Madada yakwatiddwa ku Lwokubiri e Busia nga kigambibwa yabadde amaze okukola olukwe okutoloka agende e Kenya alyoke yeeyongereyo wadde ng’ensonda zaategeezezza Bukedde nga bwe yategeezezza nti yabadde agenze kugula yingini ya mmotoka ye. Okumukwata baamusanze ayambadde empale ya kinu era mwe baamutuusirizza mu kkooti.
Baamuvuze ne bamuleeta ku poliisi y’e Wandegeya gye baamugattidde ku Waiswa Mufumbiro gwe baakwatira ku kkooti e Kanyanyan gye yabadde agenze okweyimirira
abasibe abaabadde batwaliddwa mu kkooti.
Eggulo ku ssaawa 5:00 ez’oku makya Waiswa ne Madaada baatwaliddwa ku kkooti e Kanyanya mu kigege ya poliisi wakati mu bukuumi obw’amaanyi okuva eri ebitongole bya poliisi ebyenjawulo okuli; ekirwanyisa obutujju, eyaabulijjo wamu ne poliisi y’amagye ne bateekebwa mu buduukulu bwa kkooti mwe baggyiddwa ku ssaawa 6:45 ez’omu ttuntu ne bayingizibwa munda mu kkooti.
Mufumbiro yazze awanise emikono gyombi waggulu nga gisibiddwaako empingu nga bw’ayogerera waggulu nti, “tetutidde bino bya kiseera buseera era mwenna temuggwaamu maanyi.”
Ng’amaze okutuuzibwa ku ntebe, yategeezezza bannamawulire ngam bwe yatuukiriddwa ng’ali ku poliisi nga bamusuubiza okumuwa ssente ave ku Bobi Wine ekintu kye yagaanye.
Yagasseeko nga bwe baamukozesezza sitatimenti ez’enjawulo nga banoonya emisango gye bamuvunaana okutuusa lwe baafunye gwe bamuggulako. Ng’ebula eddakiika mbale okuwera essaawa 7:00 ez’omu ttuntu, omulamuzi Damalie Agumasiimwe yayingidde kkooti erafayiro ya ba Eddie Mutwe n’eyitibwa nga ne Mufumbiro agattiddwaako
ng’owoomunaana ne Saudah ng’owoomwenda era omulamuzin n’abasomera ebikwata ku misango egibavunaanibwa. Nga basomerwa emisango empaaban yabadde eraga nti Madaada ye Saudah Madaada era nga yeeyita AIGP ekintu kye yawakanyizza n’ategeeza nti ye si ye AIGP n’asaba kkooti etereeze.
Ku misango etaano egiri ku mpaaba Waiswa yavunaaniddwaako ebir kuli okwenyigira mu kukola paleedi etendeka obukodyo bw’ekinnamagye wamu n’okwekobaana okukola
omusango. Wabula Madaada ye yasomeddwa emisango esatu okuli okutendeka abantu mu bukodyo bw’ekinnamagye awatali lukusa kuva wa minisita, okwambala ebyambalo
ebyefaanaanyiriza ebyebitongole by’ebyokwerinda n’okwekobaana
2 Bukedde Lwakuna September 11, 2025 AMAWULIRE Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya (wakati)  ng’akwasibwa ebbaluwa oluvannyuma lw’okuzzaayo empapula. Kozesa App ya Vision Digital Experience olabe vidiyo.
okuzza omusango, Madaada ne Mufumbiro bonna emisango baagyegaanyi
nga bayita mu ba puliida baabwe abaakulembeddwa Evan Ochieng, Samuel Muyizzi n’abalala. Abaabadde bazze okubeeyimirira kwabaddeko; Moses Baligeya Mufumbiro (taata wa Mufumbiro), Ronald Balimwezo Nsubuga (Nakawa East), Edith Katende (mukyala wa Mufumbiro). Ate abaabadde bazze okweyimirira Madaada kuliko; Sipiika wa KCCA Zaharah Luyirika Maala, mmeeya wa Kawempe, Emmanuel Sserunjogi ne Abdul Karim Lukoda. Wabula omulamuzi Agumasiimwe yabasindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga September 29, 2025 lwe banaakomezebwawo mu kkooti bawulire okweyimirirwa kwabwe.