Amawulire

Maama w'omwana eyagabiddwa ew'omusajja omulala alaajanye

Winnie Nalubuuka 30 omutuuze we Konge- Buziga asattira lwa mutabaniwe gw’alumiriza okugabibwa ew’omusajja omulala gw’agamba nti si ye taatawe omutuufu.

Maama w'omwana ng'alaga ebiwandiiko by'omwana
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

Winnie Nalubuuka 30 omutuuze we Konge- Buziga asattira lwa mutabaniwe gw’alumiriza okugabibwa ew’omusajja omulala gw’agamba nti si ye taatawe omutuufu.

Omwana eyagabiddwa ye Latif Tiagatol ow’emyaka mukaaga n’ekitundu nga kigambibwa nti ono yatwaliddwa omusajja Omunigeria Ossy Linus,  Nalubuuka gw’alumiriza nti si ye tatawe omutuufu kubanga ebibye naye byali byaggwa dda.

Nalubuuka agamba nti mu myaka nga musanvu egiyise yali yayagalanako n’omusajja Omunigeria ono kyokka nebaawukana olw’ensonga ezitali zimu era nga yali tamufunyisanga ku lubuto.

Omwana akaayanirwa nga bw'afaanana

Omwana akaayanirwa nga bw'afaanana

Oluvannyuma lw’okwawukana, Nalubuuka yasalawo n’afuna omusajja omulala n’atandika obulamu obupya n’amuzalira abaana babiri kyokka nga kyamubuseeko Ossy okuvaayo nga akaayanira omwana.

Agamba nti nga amaze okulaba nti Omunigeria alemeddeko nga abanja omwana, baasalawo ensonga okuzitwala ku poliisi ya CPS mu Kampala nga eno gyebaasalirawo omwana okumutwala akeberebwe endagabutonde..

Baagenda ku ddwaliro e Nakasero ne baggyibwako omusaayi kyokka abyava mu musaayi ne biraga nti omwana yali wa Ossy, nga kino Nalubuuka takkiriganya nakyo kubanga ye amanyi ebbanga etuufu mweyayawukanira ne Ossy.

Kyokka oluvannyuma lw’obutakkiriziganya na byava mu musaayi, poliisi yasalawo okusooka okweddiza omwana nga bwebalinda okuddamu okukeberebwa endagabutonde.

Omwana yatwalibwa ku Nsambya Baby’e Home era Nalubuuka n’awebwa n’olukusa okugendanga okulaba ku mwana.

Ebbaluwa ya KCCA

Ebbaluwa ya KCCA

Nalubuuka agamba nti ku Sanday ya wiiki ewedde yagenda ku Nsambya baby’s Home okulaba ku mwana nga eno kyamubuukako ate okumutegeeza nga omwana bwebaamuwa omusajja Omunigeria oluvannyuma lw’okubewubangako ebbanga.

Yakubira Omunigeria essimu nga ono yakkiriza nga omwana bweyali yamuwereddwa era nga y’amulina.

Wakati mu kusoberwa, Nalubuuka yasalawo okudda ku CPS kyokka ne bamutegeeza nga ensonga bwebazivudemu nga bw’aba ayagala obuyambi obusingawo alina kugenda wa Probations Officer.

Nalubuuka ayagala Omunigeria aggyibweko omwana adde mu mikono gya poliisi era baddemu baggyibweko endagabutonge mu ddwaliro eddala ku bagaseeko ne taata w’omwana ye gw’amanyi omutuufu.

Asabye ab’obuyinza okumuyamba asobole okufuna obwenkanya kubanga ye omwana amanyi bulungi taata we omutuufu kubanga enkolagana ye n’Omunigeria yali yakoma dda

Tags: