Akakiiko akaddukanya emizannyo gy'abaliko obulemu aka national Olympic committee nga kali wamu ne kibiina ekiddukanya emuzannyo gyabamuzibe mu Africa ekya IBSA bironze ekisaawe kya Nakivubo okutegeka emipiira gyabamuzibe egisookedde ddala ku lukalu lwa Africa mu divizoni eyokubiri.
Ebisaawe bibiri byebyabadde bisongeddwamu okutegeka empaka zino okuli ekya KCCA e Lugogo ne kye Nakivubo.
Wooteri ya golden tulip nayoyalondeddwa okusuza abagenyi oluvannyuma lw'okutuukiriza ebisaanyizo byonna ebyabadde byetaagisa ekibiina kyensi yonna.
Omukungu wekibiina ekifuga omuzannyo guno mu Africa Driss El Mountaqi okuva e Morocco nga ali wamu n'abakungu ba paralympic committee eya Uganda nga bakulembeddwa Patrick synole ne president w'omupiira gwa bamuzibe muzafaru jjagwe basoose kwekeneenya kisaawe kye Lugogo kyokka ne bakizuula nti walekaana nnyo olwomulimu gwokuzimba ekisaawe kino ogugenda mu maaso ate nga omuzannyo guno guzanyibwa mu kasirise.
Rogers Mulindwa ng'alambuza abakungu abaddukanya omupiira gw'abamuzibe