ENTIISA ebuutikidde abatuuze ku kyalo ky’e Nakyesanja ekisangibwa mu diviizoni y’e Nabweru abatuuze bwe baguddemu ekyekango oluvannyuma ly’omwana ow’omwaka ogumu okufiira mu nnyumba bw’ekumiddwako omuliro eri abantu abatannategeerekeka olw’enkaayana z’ettaka.
Afudde ye Michah Nvule ow’omwaka ogumu n’ekitundu era omulambo gusangiddwa ku luggyi bw’abadde agezaako okufuluma ennyumba.
Nnyina w'omwana ng'ayaziirana
Omugenzi azaalibwa Bbosa Ssengendo 38, ne Juliet Namutosi ng’omuliro we gukwatidde ennyumba maama abadde agenze ku dduuka kubaako nebyagula ate taata ye abadde agenze ku luzzi kuleeta amazzi agokukozesa awaka.
Omuliro guno okukwata gutandikidde mabega wa nnyumba ku miti waggulu nga waliwo omuvubuuka abadde atambula nga yalengedde omuliro nga gwaaka kyokka agenze okutuuka nga gumaze okusasaana wano nakuba enduulu ezisombodde abatuuze.
Bano tebasoose kutegeera nti mu nnyumba mulimu omwana abadde yeebasse ng’abazadde be bazze ne bategeera nti mubaddemu omwana mu nnyumba.
Ennyumba omwabadde bbebi mwe yafiiridde yaweddewo.
Poliisi ezze n’ezikiza omuliro era taata w’omugenzi Bbosa agambye nti omuliro guno bagukumye bukumi kuba mu nnyumba teriimu masannyalaze wadde sigiri ebadde efumba.
Kyokka ono agambye nti omuliro guno gwekuusa ku nkaayana za ttaka eziri mu kika kye. Yayongeddeko nti bazze bamukolako obulabe kyokka n’addukira ku poliisi n’atafuna kuyambibwa.
Bbosa agambye nti ensonga z’ettaka lino kkooti yalagira poliisi ekwate abantu b’erumiriza okumukijjanya kyokka ne bagaana nga bakanya kumutambuza nga kati ali mu kutya nti obulamu bwe bwandirugenda.
Bo abatuuze basabye poliisi okulaba ng’ebayamba ku nsonga zino kuba ensonga z’ettaka lino zirudde ebbanga ddene nga weeziri olw’obutakkaanya obuli mu ffamire era ne basaba waakiri bagabane.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okulaba nga banoonyerezza abaakoze ekikolwa kino.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti ensonga zino nga poliisi etandise okuzinoonyerezaako era waliwo abantu be bayigga okulaba nga bakwatibwa ku nsonga zino.