Olukung'aana lw'enjiri e Namairembe lujjumbiddwa

Olukung'aana lw'enjiri e Namairembe lujjumbiddwa 

Kkwaya ya Diocese ng'eyimba
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ABANTU bajjumbidde mu bungi okwetaba mu lukunga’ana lw’eniri gaggadde olw’omwaka 2025 olutegekeddwa obulabirizi bw’e Namirembe mu bimuli bya Lutikko e Namirembe.

Leero ku  Ssande abakkiriza okuva mu bulabirizi bwe Namirembe ne bitundu ebirala baabukeereza nkokola okwetaba mu lukungaana luno olutumiddwa Namirembe Diocesan Convention 2025 okusobola okwerira ku kigambo kya katonda.

Aba Mission team nga baweereza

Aba Mission team nga baweereza

Ekigambo kigenda mu maaso wakati mu mafuta agatiriika nga babulizi nabeegayiri abamaanyi abakulembeddwaamu omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja, omulabirizi wa Central Busoga Patrick Wakula, ddiini wa lutikko y' e Namirembe Rev. Can. Dustan Kiwanuka Mazinga, Rev. Stephen Lumu Lwasi akulira ekitongole ekibulizi ky'enjiri eby’okubuulira bw’e Namirembe, Rev Grace Kavuma amyuuka akulira ekitongole e kibuulizi ky’enjiri e Namirembe n’abalala.

Enkumi ne nkumi z’abantu abato, abavubuka ,abakulu na bakadde tebalutumidde mwana nga mubangu abazze kwekuli ne Kaliisizo wa gavumenti Betty Kamya n'abakukunavu abalala bangi.
Kwaya ezenajawulo okuli eza makanisa ne zabaana ba masomero nazo zizze mu bungi okubulira ekigambo okuyita mu nyimba.