Maama Fiina azzeemu okulondebwa okukulira abasawo b’ekinnansi

Apr 26, 2024

SOFIA Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina azzeemu okulondebwa okukulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga okumala ekisanja kya myaka etaano.

Maama Fiina ng’amansira amazzi ku mukolo gw’okumutongoza.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

SOFIA Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina azzeemu okulondebwa okukulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga okumala ekisanja kya myaka etaano.
Abasawo abeegattira mu kibiina kya Uganda n’eddagala n’obuwangwa okwetoloola eggwanga baakung’anidde ku kisaawe ky’eggombolola ya Wakiso-Mumyuka gye baamutuulizza.
Maama Fiina yatuukidde mu mizira wakati mu kusindogoma kweng’oma nga yazze awerekeddwako omuyimbi Hassan Ndugga. Olwatuuse emikolo gy’okumutuuza ne gitandikirawo nga gyakuliddwa Jjajja Bujagaali eyamwagalizza ekisanja ekyokusatu ekirungi ng’abakulembera.
Omukolo gwetabyeko abantu abenjawulo okuva mu Gavumenti n’ebitongole ebirala. Ekitongole kya America ekya USAID nga kiyita mu mukungu waakyo, Lydia Namusisi yasomesezza abasawo engeri y’okwewala obulwadde bwa siriimu n’akafuba. Era yabalabudde n’okwewala emmindi gye yagambye nti esobola okubalwaza.
Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyeddagala ekya National Drug Authority baasabye abasawo okweggyamu ababeerimbikamu abavuddeko ebikolwa by’okusaddaaka abantu okweyongera n’okuvumaganya omulimu gwabwe.
Mu balala abeetabye ku mukolo guno kwabaddeko ne RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi n’omumyuka we ow’e Nansana, Ali Shafic Nsubuga.Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika yategeezezza abasawo nga ye bwali omwennyamivu n’emirimu gyabwe gye bakola ng’agamba obujjanjabi bwabwe bwesigamye ku butonde omuli emiti, ensozi n’emigga kyokka nga biggwaawo batunula. Yasabye Maama Fiina mu kisanja kino ekyokusatu essira eriteeke ku kutaasa obutonde bwensi.
Maama Fiina yeebazizza abasawo okuddamu okumuwa ekisanja ekyokusatu n’alabula abattattana omulimu gwabwe nga bw’atagenda kubattira ku liiso.
Yakalaatidde abasawo okukomya omuze gw’okwewalana ne batuuka n’okwesibako emisango egya kisaddaaka bantu. Mu busawo yakinogaanyizza nti basaddaaka nsolo si bantu. Abasaddaaka abantu yagambye nti batemu abalina okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Mu ngeri y’emu yasabye Gavumenti okwenenya omusolo gw’eyagala okubateekako n’agamba nti basasula emisolo emirala ku bintu ebirala bye bakola nga tebasaanye kubinikibwa mipya kuba baliwo kutaasa ggwanga

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});