Poliisi e Kira Road eyigga maama agambibwa okwokya omwana we ow'emyaka 4 amazzi agookya olw'okubba omuceere.
Bino bibadde mu zzooni ya K3 e Kyambogo mu Kampala, Mackline Zabachi gy'agambibwa okwokya omwana we omuwala amazzi, ng'amulanga okulya omuceere nga tagumuwadde.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala, avumiridde ebikolwa bino era n'agamba nti bamuyigga.