Looni z'abakyala zitongozeddwa mu Lubaga

ABAKYALA 50 mu Lubaga baweereddwa ssente za looni okutali magoba bazikozese okwekulaakulanya oluvannyuma bazizzeeyo mpolampola.

Omuwabuzi wa Pulezidenti Sarah Kanyike ng'ali mu kutongoza Looni e Lubaga
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ABAKYALA 50 mu Lubaga baweereddwa ssente za looni okutali magoba bazikozese okwekulaakulanya oluvannyuma bazizzeeyo mpolampola.

 

Looni zino bazitongozezza leero nga August 30, 2023, e Kabowa mu munisipaali y'e Lubaga ku wofiisi z'ekibiina kya bakyala eky’okwekulakulanya ki Grameen nga kino kiwagirwa minisita w’ebyengigiriza mu ggwanga era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni.

Burora ng'wa abantu ssente za Looni

Burora ng'wa abantu ssente za Looni

 

Mu nteekateeka ya Grameen mukyala Museveni yassaawo enkola y’okusitula embeera z’abakyala nga yakitandikira Lubaga era n'ateerawoa abakyala baayo ensawo enzibizi gye yabateramu obukadde 100 bazeewole nga tekuli magoba.

 

 Okugaba looni kuno kwatongozeddwa omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z’abakyala Hajjati Sarah Kanyike ng’ali wamu ne RCC wa Lubaga Henderson Burora,sipiika w’olukiiko lwa munisipaali  Musa Mbazira era akulira Grameen mu Lubaga n’abalala.

 

Hajjati Sarah Kanyike yabuuliridde abakyala okuddayo ku nono yaabwe ey'okubeera aba mazima n’abagamba nti bwe banaakikola ne batambulira mu bweruufu mukyala Museveni agenda kubongera ensimbi.

 

Ye RCC Burora akubirizza abakyala obuteewola ssente kwesanyusa naye bazikolemu ebizimba ate era bazize ngayo mu budde okusobozesa n’abalala okuzeyambisa.

 

Supiika Mbaziira asiimye mukyala Museveni okuvaayo n’omulamwa guno era naabakubiriza okwagazisa ne banabwe okwenyigira mu kibiina kino.

 

Omu ku bakyala abasoose okuganyurwa mu looni zino, Grace Nabbosa ow’e Najjanankumbi  agambye nti abadde yetaaga 700,000/= okusiba tayiro mu buyumba bwe obw’abapangisa batandiike okubusulamu afunemu akasente kati ke yazifunye kiwedde.