Amawulire

Kyagulanyi awadde ab’e Manafwa ne Namisindwa obweyamo ku mmwanyi

ABANTU b’e Manafwa ne Namisindwa balaze Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu bye baagala abakolere nga bamulonze ku bwapulezidenti.

Kyagulanyi ng’ayogera eri abawagizi be eggulo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABANTU b’e Manafwa ne Namisindwa balaze Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu bye baagala abakolere nga bamulonze ku bwapulezidenti.
Nga bakulembeddwa omumyuka wa Pulezidenti wa NUP atwala Obuvanjuba, John Baptist Nambeshe, abantu baalaze Kyagulanyi obulumi bwe balimu olwa gavumenti okweddiza ekirime ky’emmwaanyi ng’eyita mu tteeka ly’emmwaanyi erya 2024, ssaako okunafuya ebibiina by’obwegassi.
Ebirala bye baamulopedde kuliko, ekya gavumenti okweddiza ettaka lyabwe erisangibwa okumpi ne Mount Elgon National park n’erigabira ekitongole kya Uganda Wild life Authority (UWA).
Okwawukanako n’ebitundu ebirala poliisi gy’ezze ng’emukugira okuyita ku nguudo ennene, ku mulundi guno teyasanze buzibu bwonna, wabula ye yasazeewo okuyita mu byalo okuva e Mbale okudda e Lwakhaka okutuuka ku kisaawe ky’e Butiiru we yakubye olukung’aana lwe olwasoose mu disitulikiti y’e Manafwa.
Yagambye nti, ekikolwa eky’okuggyawo ekitongole kya UCDA omwali mwegattira abalimi b’emmwaanyi kyagenderwa okunafuya abalimi n’okubaavuwaza.
Kyagulanyi nga tannatuuka Manafwa yasoose kuyimirirako mu kabuga k’e Nakupa nga wano we yasinzidde okukungubagira eyaliko katikkiro w’Eggwanga lya Kenya, Raila Amolo Odinga eyafiiridde mu ggwanga lya Buyindi.
Yamwogeddeko ng’abadde omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu n’enfuga ey’amateeka.
Kyagulanyi mu kwogerako eri abawagizi be e Manafwa, yabasabye okukozesa omukisa guno okukyusa obukulembeze ku mitendera gyonna gavumenti esobole okukola ku bibanyigiriza ng’ono yeeyamye okusazaamu etteeka ly’emmwaanyi eryaggyawo ekitongole ekyali kivunaanyizibwa ku mmwaanyi ekya UCDA ekyavaako bbeeyi okugwa.
Yasuubizza okubaddiza ettaka lyabwe aba UWA lye babagobako n’abasaasira olw’obwavu obubaluma kyokka ng’ekitundu mwe bali kigagga, n’abasuubiza okukola ku bizibu byabwe byonna singa banaamulonda mu 2026.
Kyagulanyi yennyamidde olwa gavumenti okulemwa okugonjoola ekizibu ky’okubumbulukuka kw’ettaka e Buduuda, Bulambuli ne Manafwa n’esalawo okusengula abantu okubatwala mu nkambi z’ababundabunda, nga yeeyamye okukola ku nsonga eno mu nnaku 100 ezisooka nga ali mu ofiisi ya pulezidenti.
Yakubirizza ab’e Bugisu okukozesa omukisa guno okukyusa obukulembeze ku mitendera gyonna okusobola okutereeza ebidibagiddwa mu myaka gino 40, n’okwenunula nga bayita mu kulonda. E Namisindwa Kyagulanyi yeezoobye ne poliisi eyamulemesezza okutuuka ku nsalo ya Uganda ne Kenya okwogerako eri abawagizi be.

Tags: