Omusajja agambibwa okusangibwa n'obukonge bw'okulonda obusoba mu 800 wamu ne foomu 83, akwatiddwa poliisi e Mityana.
Mu kulaajana, aliko abakozi b'akakiiko k'ebyokulonda babiri, b'alumiriza okubumuwa, nga nabo bakwatiddwa.
Bino, bibadde ku kyalo Kibaati mu ggombolola y'e Buswabulongo mu disitulikiti y'e Mityana, poliisi ng'ekulembeddwamu DPC Tyson Rutambika, bwe bakutte Micheal Matovu.
Kitegeezeddwa nti ono, bamusanze n'obukonge 862 ne ffoomu 83 ng'agezaako okubugabira abantu , n'atwalibwa ku poliisi e Mityana.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti mu kumukunya , alonkomye , muganda we Godfrey Sunday Kazibwe ow'akiiko k'ebyokulonda mu ggombolola y'e Bulera , nti ye yabamuwadde.
Agasseeko nti mu kubumuwa, baabadde ne Fred Kasaana nga naye mukozi w'akiiko mu muluka gw'e Misebe era nga nabo bombi, bakwatiddwa okuyambako mu kubuuliriza.
Kitegeezeddwa nti Matovu, muyizi mu Mityana Institute of Nursing and Midwifery ng'avunaanibwa kusangibwa n’ebintu bya gavumenti mu bukyamu so ng'ate bali abalala, bali ku musango gw'okulagajjalira ebintu bya gavumenti.