Amawulire

Ab'aganyulwa mu nteekateeka ya Youth Wealth Creation Programme e Kawempe balaze amaanyi nga baniriza Museveni mu kitundu kyabwe.

Aba’ganyulwa mu nteekateeka ya Youth Wealth Creation Programme e Kawempe balaze amaanyi nga baniriza Museveni mu kitundu kyabwe. 

Youth Wealth Creation Programme e Kawempe beebugira Pulezidenti Museveni
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Aba’ganyulwa mu nteekateeka ya Youth Wealth Creation Programme e Kawempe balaze amaanyi nga baniriza Museveni mu kitundu kyabwe.

Ab'aganyulwa mu Youth Wealth Creation e Kawempe nga bali mu vvayibu eyaniriza Pulezidenti Museveni.

Ab'aganyulwa mu Youth Wealth Creation e Kawempe nga bali mu vvayibu eyaniriza Pulezidenti Museveni.

ABANTU abaaganyulwa mu nteekateeka ya State House ey’okukwasizaako abakola emirimu gya wansi eya, Youth Wealth Creation Programme, okuva mu miruka egikola munisipaali eno ey’e Kawempe babukereza nkokola okukuumba okugenda ku kisaawe kya Mbogo okwaniriza omukulembeze wabwe Yoweri Kaguta Museveni nga, ono yakwaatide ekibiina ki NRM bendera kubwa pulezidenti. 

Ndase akulira Youth Wealth Creation programme ng'akulembeddemu abantu abaagiganyulwamu e Kawempe okugenda ku kisaawe kya Mbogo okwanira pulezidenti Museveni.

Ndase akulira Youth Wealth Creation programme ng'akulembeddemu abantu abaagiganyulwamu e Kawempe okugenda ku kisaawe kya Mbogo okwanira pulezidenti Museveni.

Bano ababadde bakumbeddwamu akulira, Youth Wealth Creation Programme, Faisal Ndase, bayisiza ebivulu mu Kawempe yona nga akabonero ak’okwaniriza Yoweri Kaguta Museveni n’okumulaga omukwano. Nga bakira batambula bwe bayimba enyimba ezimusuuta n’okukwata ebipande ebiriko obubaka obwebaaza.

Wakati Ndase akulira Youth Wealth Creation ng'ali n'abalala bwe babadde baaniriza pulezidenti Museveni e Kawempe

Wakati Ndase akulira Youth Wealth Creation ng'ali n'abalala bwe babadde baaniriza pulezidenti Museveni e Kawempe

Faizal Ndase akulira enteekateeka ya Youth Wealth Creation agamba Museveni okuyita mu Jane Barekye, avunayizibwa ku maka g’Obwapulezidenti, ayambye nnyo abantu b’e Kawempe naddala abakola emirimu gya wansi nga yensonga lwaki babade kibakakatako okubaawo okumulaga omukwano n’okulaga ensi nti nga January 15, 2026 akalulu bateekwa kawa Museveni.
Tags: