Amawulire

Kkwaya ya Yesu Kabaka emalirizza ebivvulu by'enyimba z'amazuukira

Kkwaya y’ekigo kya Yezu Kabaka ng’ay’ekulemberamu okuyimba mu misa ey’essawa 4, mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala emalirizza ebivvulu byayo eby’ennyimba z’Amazaalibwa by’ezze ekolera mu bifo eby’enjawulo.

Kkwaya ya Yesu Kabaka ng'eyimba ennyimba z'amazaalibwa
By: Mazinga Mathias , Journalists @New Vision

Kkwaya y’ekigo kya Yezu Kabaka ng’ay’ekulemberamu okuyimba mu misa ey’essawa 4, mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala emalirizza ebivvulu byayo eby’ennyimba z’Amazaalibwa by’ezze ekolera mu bifo eby’enjawulo.

Kkwaaya ya Yesu Kabaka ng'eyimba ennyimba z'amazaalibwa

Kkwaaya ya Yesu Kabaka ng'eyimba ennyimba z'amazaalibwa

Ekivvulu eky’asembyeyo y’akikoledde mu Klezia eno, ku Ssande nga December 21. Mu kivvulu kino eky’etabiddwako abantu abangi, kkwaya eno y’ayimbidde ennyimba ez’amaloboozi ag’ekizungu, n’ez’abayiiya abawano, nga Fr. Dr. James Kabuye, Fr. Dr. Joseph Namukangula, ne Joseph Kyagambiddwa, ez’anyumidde ennyo abantu.

Ekkanisa ya Yesu Kabaka

Ekkanisa ya Yesu Kabaka

Bwanamukulu w;ekigo kya Yezu Kabaka, Msgr. Gerald Kalumba ekivvulu kino naye y’akyetabyeko. Y’asiimye nnyo abayimbi ba kkwaya eno olw’okuwangayo onudde bwabwe, n’ensimbi zaabwe, nebaweereza Katonda nga bayita mukuyimba.

Oluvannyuma lw’ekivvulu, abayimbi baakulisizza munnaabwe Josephine Bakhita eyafunye diguli mu by’Amateeka.

Tags: