Kkooti ya Kisekwa egobye omutaka Walusimbi ku bukulu bw'ekika ky'Effumbe
Aug 29, 2024
KKOOTI ya Kisekwa egobye omukulu w'ekika ky'Effumbe Yusuf Mbirozankya ku bukulu buno ng'egamba nti abadde abutuddemu nsowole. Kkooti eno ekulirwa Ssentebe waayo, Joshua M Kateregga, yeyawadde ensala eno olunaku lw'eggulo ng'asinzira e Bulange-Mmengo.
Omutaka Walusimbi eyagobeddwa ku bukulu bw'ekika
KKOOTI ya Kisekwa egobye omukulu w'ekika ky'Effumbe Yusuf Mbirozankya ku bukulu buno ng'egamba nti abadde abutuddemu nsowole.
Kkooti eno ekulirwa Ssentebe waayo, Joshua M Kateregga, yeyawadde ensala eno olunaku lw'eggulo ng'asinzira e Bulange-Mmengo.
Lubega Ssebende nga ye muwandiisi wa kkooti eno yeyasomye ensala n'agamba nti Omutuba gwa Ssabalangira Kasolo ogubadde mu bukulembeze bw'ekika kino okumala emyaka egisukka 800, si gwa nnono esimbye ku Kisitu Ntege Walusimbi, eyatandika ekika ky'effumbe.
"N'olwekyo abo bonna ababadde balya obukulu bw'ekika kino (Obwawalusimbi), nga bava mu Mutuba gwa Kasolo, babadde babulya nsowole. Ku nsonga eno, abawaabi baali batuufu okuwaaba omusango guno," Ensala ya kkooti bweyasomye.
Kisasa James Walusimbi okuva mu Ssiga lya Magunda e Lwanga-Mawokota, omu ku bantu 14 baatwala omusango guno nnamba KD/01/2018 mu kkooti ya Kisekwa.
Bano baasaba, Kkooti, okusingisa omutuba gwa Ssabalangira Kasolo, okutuuzanga ensowole mu ntebe ya Walusimbi, Kisekwa kyakkanyizza nabo.
"Era kkooti y'eddiiro eno n'eramula nti, ennono y'obusika bwa Walusimbi omukulu w'ekika ky'Effumbe, eri wa Nagaya. Nagaya ye Mwana Kisitu Ntege Walusimbi, Omutandisi w'ekika ky'effumbe gweyasigaza ku butaka bwe obukulu e Bajja mu Busiro."
Kkooti yayongedde neetegeeza nti ekyo bwekiri ku bika ebirala byonna binnansangwa;- Olugave, engeye, Ebyange era neeraga nti Omwana oba omuzzukkulu aweebwa embuga ku butaka obw'ekika ekyo, y'avaamu obusika bw'ekika ekyo obw'ennono.
Oluvanyuma lw'ensala eno, kkooti yagambye nti oludda oluwulira nga terumatidde na nsala eno, lwa ddembe okujjulira ewa Kabaka mu bbanga lya nnaku 30 okuva ensala lwekoleddwa.
Omusango guno gwatwalibwayo mu December 2017 negutandika okuwulirwa nga May 16,2018 nekukomekkerezebwa mu October 2021.
Omutaka Mbirozankya yayunjulwa ewa Kabaka mu 2013 ng'omukulu w'ekika omuggya okudda mu bigere Simeo Kiwanda eyali avudde mu bulamu bwensi.
Ntege Walusimbi yazaala abaana bana okuli Nagaya Makubuya, Nakku, Magunda ne Ssempala. Abalenzi abasatu baaweebwa amasiga era kkooti yakizudde ng'Omutuba gwa Ssabalangira Kasolo bajjajja ba Mbirozankya mwebaze bafugira nga buli mu bbanga kuba Tegulina weguva.
Ekyo kyaleetera abawaabi okugamba nti abantu abali mu Mutuba guno, bava Kibulala ewa Ssababiito. Kkooti yasisinkana Ssababiito Samuel Kateregga n'agitegeeza nti tebalina bukakafu bwonna nti Ssabalangira Kasolo ava Kibulala. Ku nsonga eyo, Kkooti yagambye olw'okuba aba Ssabalangira Kasolo,tebalina abakayanira,basigala bantu b'ebika ky'Effumbe wadde nga mu bukulembeze ebubaggyemu.
Katikkiro w'ekika mu kiseera kino John Kigozi naye eyabadde mu kkooti yategezezza oluvanyuma lw'ensala nti bagenda kujjulira.
Ate bbo abali ku ludda oluwaabi, abaakuliddwamu Kisasa Walusimbi baatandikiddewo okujjaganya n'okwebaza kkooti olw'okutereeza ennono y'ekika kyaabwe.
Kisasa Walusimbi era yagambye nti wadde ava mu Ssiga lya Magunda, ye ne banne baayagala okutereeza ennono y'ekika ng'enteekateeka zigenda kukolebwa, okulaba obukulembeze bw'ekika obuggya bwe bunafanana.
Omusango guno gwabadde gwa bbuggumu nga kkooti yakubyeeko neebooga.
Mu 2022, Kkooti eno yasala omusango gw'ekika ky'endiga mweyaggyira obukulembeze bw'ekika kino obumaze emyaka egisukka 400 nga buliibwa mu mpalo y'amasiga ana omukono mu kibbya kyokka obukulembeze bw'omugenzi Lwomwa Daniel Bbosa, nebujjulira ewa Kabaka nga mu kiseera kino Lwomwa Eria Buuzabo Lwasi y'akulembera ekika okutuusa Kabaka lwaliwa Ensala ey'enkomeredde.
No Comment