AKULIRA eddwaliro erijanjaba abantu abalina obuzibu ku mutwe Dr. Juliet Nakku awabudde bannanyini malwaliro, palamenti, Kampuni, ebitongole n'amassomero okuteekawo enkola ebudaabuda abakozi okubatangira okufuna ekizibu ku mutwe.
Amyuka ssentebe w'akakiiko ka COSASE ng'annyonnyola 
Kiddiridde okulabikirako mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo nategeeza nga omuwendo gw’abalwadde abalina ekizibu ku mutwe bwe gweyongedde ebitundu 70 ku buli kikumi ng’ekizibu akitadde ku situleesi ze bafuna ku mirimu.
Abalwadde abasinze okukosebwa kuliko abasawo , Bannabyabufuzi saako n’abayizi abatandika obutandisi okuvubuka nga bano bali ebitundu 22 n’obutundu 9.
Ekya bayizi kirabise nga kitutte nnyo ku mumyuka wa ssentebe wa kakiiko Gorreth Namugga (Mukazi/Mawogola South) nabuuza kwe kiva n’amagezi gebayinza okusala okutaasa abaana.
Wabula Nakku yasabye abazadde n’abamasomero bulijjo okufuna nga abantu abayinza okwogera n’abaana embeera obutasajjuka ate eri abakozi abakozesa babateerewo enkola mwebayinza okuta okubudaabudibwa.