Amawulire

Ab'ekika balumbye mukoddomi waabwe ne bamuvuma ne bamwogoloza

Ab'ekika babukeerezza nkokola ne balumba omuko eyawasa muwala wabwe n'amusiba n'empeta, ne bamuvuma ne bamwogoloza ne bamulangira obufere nga naye bw'abaddiza ebyobuwemu.

Abako abaalumbye mukoddomi wange nga bamulanga okubabba
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Ab'ekika babukeerezza nkokola ne balumba omuko eyawasa muwala wabwe n'amusiba n'empeta, ne bamuvuma ne bamwogoloza ne bamulangira obufere nga naye bw'abaddiza ebyobuwemu.

Omuko yasoose kufunamu obutakkaanya ne mukazi we era omukazi kwe kumuwendulira ab'ekika kye oluvanyuma lw'okwasa ekyama ky'abadde yasirikira nti ekibanja kya kitaawe kyeyali yabamatiza nti kyapangisibwa ate bba yeyakikumpanya n'akitunda okusasula ku beyewolako ssente abaali bamutwala mu kkomera.

Basoose kumunoonya waka nga nga bakutte emiggo, era bwebatamusanze, olwo omukazi n'abakulembera ppaka mu kisenyi gy'abadde nga akoola emboga oluyombo ne lukoya kumpi kugwang'ana mu malaka.

Bino bibadde ku kyalo Kiribedda mu ggombolola y'e Nazigo mu disitulikiti y'e Kayunga.

Omuko Charles Nduunyi, bamuvunaana kukumpanya kibanja kya ssezaala we Ismael Lubaale Kabaane eyafa mu 2000 era nga omukazi Namatovu Vivian yali amatizza abeewabwe nti waliwo eyakipangisa kyokka bwe baatabuse ne bba kwekutemya ku beewabwe nti omusajja ekibanja yakitinda.

Nduunyi, bw'alabye abako tumulabye nga gamwesibye era abako bwe bamutandise naye kwekubaviira mu buntu.

Nduunyi nga bimusobedde oluvannyuma lw'okulumbibwa abako

Nduunyi nga bimusobedde oluvannyuma lw'okulumbibwa abako

Namatovu Vivian aleese ne muto we Namuwonge Sharon era nga ne taata omukuza Kafuko James ajjiddeko. 

Omuko Nduunyi agambye nti ekibanja yakitunda n'abamu ku bakoddomi be ne babawa ceeke wabula kino mukazi we n'abako babyegaanyi ne bagamba nti omuko Nduunyi mulimba wa bbaluwa.

Namatovu agambye nti ye ne Nduunyi bafumbo ba mpeta era balina abaana wabula bulijjo eby'okuba nti ekibanja kyabwe kyatundibwa yabisikira olw'okutya okuwemuka ewabwe nti alina omusajja omukumpanya wabula bweyatandise eby'okuwasawasa kwekubijja era nti omusajja ono bw'ataamukwate mulungi ajja kwasa ebyama ebirala by'asirikidde.

Oluvanyuma baleese ssentebe wa LC 2 atwala omuluka gw'e Natteta John Mutyaba bamuleese ne bakkirira ku kibanja omuko kyeyatunda n'agamba nti agenda kufuba okulaba nga akwataganya omuko n'abamuwa omukazi okulaba nga emirembe gibeerawo famire esobole okugenda mu maaso.

Abako bawera ensonga okuzongerayo baanike mutabani wabwe nti mufere n'oyo eyaguzibwa ekibanja bakimugobemu kubanga omuko Nduunyi yakumpanya kikumpanye.

Tags: