Ab'essomero lya Mengo SS basiimye abayizi baabwe 33 abaanywedde mu bannaabwe akendo ne bamalayo obubonero bwonna 20 mu bibuuzo bya siniya ey'omukaaga ebyakadda.
Essomero Iiwadde abayizi bano amabaasa amazito okubasiima era buli muyizi agenze Musanyufu byansusso.
Akulira essomero lino Grace Nantajja yeebazizza abayizi baabwe nategeeza nti okusomera ku Mengo SS oba mukakafu ku buwanguzi olw'omutindo gwabwe omulungiu by'enjigiriza.

Abdul Wahab Kaddu BCM/ICT 20pts

Abayizi 33 ku Mengo SS abamazeeyo obubonero bwonna 20pts mu bibuuzo bya siniya ey'omukaaga nga beebaza Katonda olw'obuwanguzi.
Abayizi 10 abakola sciences baweereddwa akasiimo akazito okusinga ku bannaabwe aba Arts.
Oluvannyuma abasomesa n'abayizi bayozaayozezza bannaabwe bano olw'obuwanguzi n'okuweesa essomero ekitiibwa