Poliisi e Kyankwanzi eri mu kuyigga omusajja Isaac Maganda, agambibwa okutema omukyala omusuubuzi ebiso, n'amunyagako ssente ezitannamanyika muwendo.
Maganda, mutuuze w'e Lubiri Kyankwanzi era ng'omukyala gw'atemye n'okubba, tannategeerekeka, bimukwatako.
Maganda, bbulooka w'emiti gye baatemamu amanda ku Ranch nnamba 5 e Kyankwanzi mu kibira.
Kigambibwa nti omukyala, yali yamugulako emiti n'assaako abagimutemera n'okumwokera amanda.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti, ono, yeefudde awerekera omukyala ono nga batambula mu kibira, nti n'amwefulira n'amutemaatema n'amuleka ng'ataawa n'abulawo ne ssente.
Agasseeko nti abazirakisa be baamuyoddeyodde ne bamutwala mu ddwaaliro e Hoima okufuna obujjanjabi ng'omuyiggo gwa Maganda bwe gugenda mu maaso.
Maganda, ali ku misango gy'okubba embuzi era abadde yaakayimbulwa ku kakalu ka kkooti w'akoledde omusango omulala.