OMUTAKA w’ekika ky’eNgabi g’akaaba g’akomba kkooti eyisizza ekiragiro ekimusengula ku ttaka kw’amaze emyaka egisoba mu 30.
Kiddiridde abaana b’omugenzi Edward Kasozi okuli Tereeza Nantale ono kati mugenzi, Rosemary Nayiga ne Steven Masengere okwekubira enduulu mu kkooti nga balumiriza Ssaalongo Aloysius Magandaazi okwesenza ku ttaka lyabwe mu ngeri emenya amateeka kwossa n’okuboononera ebintu byonna ebyaliriko mu kiseera we yasengerako mu mwaka 1993.
Omukadde Rose Nayiga 70 omwana omukulu mu maka ategeezezza nti, Magandaazi olw’okuba mwana w’eyali omukulu w’ekika Joseph Kamoga, yakikozesa ng’omuwaatwa mwe yatwalira ettaka lyabwe.
Nayiga agamba nti, mu mwaka 1993, ono yajja n’amusaba nti ssenga mbadde nkusaba nnimire wano ennyanya wabula ekyaddirira kwe kutandika okukuba amatoffaali ssaako n’okumenya ennyumba ya kitaawe n’antegeeza nti ebadde mu mbeera mbi nnyo kwe ku mutwala mu b’obuyinza era bino we byatandikira okutuusa kkooti lwe mulagidde aveewo.
Ssaalongo Aloysius Lubega Magandaazi omutaka Nsamba ow’e Ngabi yategeezezza nti baawawabira Magandaazi so si Nsamba wabula ebintu byakyuka kati baagala kutwala ttaka lya Kika kubanga Kitaabwe yalaama nti ekibanja kino kya kika era wano kitaabwe yasulangawo busuzi mukiseera bwe yali omulwadde nga bamujjanjaba naye nga si we yali abeera.
Engabi
Anderson Burora omubaka wa Pulezidenti e Lubaga ng’ali wamu n’abatwala eby’okwerinda mu kitundu okubadde, Paul Walakira Ssentebe w’ekitundu, Asp John Kwesiga OC Katwe, Asp Alex Micwemirungi OC Mutundwe, yatuuseko ku ttaka era n’atuuza olukiiko okwegerezeganya n’abatuuze okubabuulira biki ebiri mu kiragiro kya kkooti nga tewannabaawo kikolebwa n’okubamanyisa nti waliwo ensalawo ya kkooti.
Haruna Gaalimaka Mbazzi omuwandiisi w’ekika ky’engabi agamba nti ffamire ya Edward Kasozi ebadde ku kyalo kino Mutundwe Kigagga Zzooni okuva mu myaka gya 1950s. Ayongerako nti Magandaazi yeefuulira abaamusembeza n’atandika okubagobaganya n’okutuusa okugoba Nnamwandu ow’emyaka 70 abaana kwe kuddukira mu kkooti nayo eyayisizza ekiragiro ekirimusengulako.
Omusango guno gwatwalibwa abaana ba Edward Kasozi mu kkooti mu 2004 nga gusaliddwa oluvannyuma lw’emyaka 19 omulamuzi Rashida Butanula okuva mu kkooti enkulu etaawuluza enkaayana ku ttaka