Amawulire

Kkooti eyimirizza Mao okutambuza emirimu gya DP

BANNAKIBIINA kya DP abawakanya obukulembeze bwa Nobert Mao nga bakulemberwa Omubaka wa Buikwe South, Dr. Lulume Bayiga bali mu kucaccanca olwa kkooti enkulu okuyisa ekiragiro ekiyimiriza Mao ne banne okutambuza emirimu gy’ekibiina kuba tegiri mu mateeka.

DR Lulume Bayiga ng'annyonnyola
By: Dickson Kulumba and Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

BANNAKIBIINA kya DP abawakanya obukulembeze bwa Nobert Mao nga bakulemberwa Omubaka wa Buikwe South, Dr. Lulume Bayiga bali mu kucaccanca olwa kkooti enkulu okuyisa ekiragiro ekiyimiriza Mao ne banne okutambuza emirimu gy’ekibiina kuba tegiri mu mateeka.

Ekiragiro kino kyayisiddwa olunaku lw’eggulo nga kiriko omukono gw’omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti enkulu, Faisal Umar Mulalira nga kiraga nti byonna ebyakolebwa ekibiina e Gulu mu kulonda abakulembeze mu 2020 tebyagoberera mateeka ga Uganda wadde ssemateeka w’ekibiina.

Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ku ofiisi ye ku Palamenti enkya ya leero, Omubaka Dr. Bayiga nga mu kiseera ky’ekimu y’akulemberamu ekiwaayi ekiwakanya obukulembeze bwa Mao ategezezza nga kino bwekiri ekigezo eri okulaba ng’ateeka mu nkola ekiragiro kkooti mu nkola.

“Tuli basanyufu ne kkooti olw’ekiragiro kino kyeyawadde era tugisaba esigale ng’eyimiridde ku maggulu gaayo okutuyambako kiteekebwe mu nkola. Ate Mao tumusaba wadde ye minisita w’ebyamateeka,agondere ekiragiro kino,” Dr. Lulume bwasabye.

Dr. Bayiga nga ye mubaka wa Buikwe South mu Palamenti ategezezza nti Mao asaanye awe ekibiina kya DP omukisa ng’ava mu bukulembeze bwakyo,kisobole okutandika ku lugendo lw’okwezza obuggya ate ye agende abukkale mu mukago gweyakola n’ekibiina kya NRM mu 2022.

Ye Omubaka Richard Lumu nga yakikkirira ekitundu kya Mityana South ategezezza ng’ekiragiro kino bwekiri mu mateeka era kisaanye okugobererwa bwatyo era n’asambajja byeyagambye nti byawulira mu nkambi ya Mao ng’egamba nti si kituufu era kyajjingiriddwa.

Lumu agambye nti ekiwandiiko kino kyayisiddwa mu mateeka era Mao bwabeera si mu mativu abatwale ku poliisi kubanga guno gubeera musango gwa nnaggomola kyokka nayo bwebamuwangulirayo nga bwebaakoze mu kkooti enkulu,akkirize ave ku bukulembeze bw’ekibiina kino.

Mu September 2023 munna DP Ben Kiwanuka Galiko yagenda mu kkooti enkulu mu maaso g’Omulamuzi Philip Odoki ng’awabira obukulembeze bw’ekibiina kya DP obukulirwa Mao olw’okumumma omukisa ogw’okwetaba mu ttabamiruka w’ekibiina kino mu 2020 era n’abalumiriza n’ekyokuba nti tebaawa bakiise mukisa kulonda bakulembeze baabwe wabula baatwalayo butwazi nkalala z’abantu nga babawadde dda ebifo.

Galiko asinzidde mu lukiiko lwa Bannamawulire luno n’alaga essanyu olwa kkooti okulaba amazima n’asaba Mao aleme kukozesa ofiisi ye nga Minisita w’amateeka n’obwenkanya mu ggwanga ate okuzingamya kaweefube we ow’okutereeza obukulembeze bw’ekibiina kino.

Mu kwogerako ne Bukedde, Mao ayise Dr. Lulume ne Banne nti Bannakatemba abatayagaliza kibiina bwatyo n’abalabula nti baleme kuccacanca kubanga ekiragiro ekyo essaawa yonna,kisobola okujjulirwako era nekiwangulwa.

Ekiragiro kino wekijjidde nga Mao ne banne abamukkiririzaamu bategese olukiiko lw’abakulembeze b’ekibiina kino e Mbale nga lwatandise olunaku lw’eggulo era eno ekiragiro kya kkooti gyekyasanze Mao nekimukwasibwa.

Tags: