Amawulire

Abadde ateekateeka embaga bamusse omulambo gwe ne bagusuula mu kibira

Abakungubazzi bazze  mu bungi mu kuziika Ssaalongo Owere Macheke abadde yeesunga okugatibwa ne Nnaalongo Prossy Namirembe nga 30 omwezi ogujja ng'ono kigambibwa nti bamutemudde omulambo gwe ne gusulibwa mu Mabira Forest. 

Omugenzi Were nga bw'abadde afaanana
By: Abu Batuusa, Journalists @New Vision

Abakungubazzi bazze  mu bungi mu kuziika Ssaalongo Owere Macheke abadde yeesunga okugatibwa ne Nnaalongo Prossy Namirembe nga 30 omwezi ogujja ng'ono kigambibwa nti bamutemudde omulambo gwe ne gusulibwa mu Mabira Forest. 

Abakungubazi nga bali mu kuziika omugenzi Ssaalongo Were

Abakungubazi nga bali mu kuziika omugenzi Ssaalongo Were

Ssaalongo Macheke yalabibwako ku lwomukagga nga 20 bweyabadde agenda mu Town e Mukono okugula emigati abanabeera mu lukiiko lw'embaga ye olw'okubiri ku Sunday nga 21 kyoka teyakomyewo waka essiimu eyakubiddwa yabadde etegeeza abenganda nga Ssaaalongo bwasangidwa mu Mabira nga attidwa ku ssaawa 11 ez'akawungezi.

Abantu nga bakwatiridde Nnamwandu

Abantu nga bakwatiridde Nnamwandu

Kigambibwa nti bweyatuuse e Mukono ne wabaawo amukubira essimu nga amwetaga naye Piki Piki ye n'ajirekera Makanika n'agenda okusisinkana eyabadde amuyise ekyazeeko kwekumusanga ng'atiddwa omulambo gwe ne gusangibwa mu Mabira e Najjembe.

Mukyala we Nnaalongo Prossy Namirembe atugambye nga bwabadde yesunga embagga yaabwe kubanga okwanjula kwali kwagwa naye ekisubizo kye kiganye olwa bbawe okumufaako.

Tags: