KKOOTI ewadde ekiragiro ku ttaka erimaze emyaka 20 nga likaayanirwa omugagga Hajji Abdul Bakaine Kasai amanyiddwa nga Kanaaba n’omusuubuzi Hajji Ahmed Zziwa.
Ekiragiro ekyaweereddwa omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa emisango gy’ettaka, Bernard Namanya kiwa Hajji Zziwa obuyinza ku ttaka ate ne kiyimiriza Hajji Kanaaba n’abantu be okubaako kye balikolerako. Era omulamuzi yalagidde kamisona w’ebyettaka mu Kampala obutagabira muntu yenna kyapa ku ttaka eriri ku Volume 3347
Folio 3 plot 43 ku Ben Kiwanuka Street okutuusa ng’omusango omukulu ogwawaabwa ku ttaka lino gumaze okusalibwa era aliteekeko n’envumbo obutasobozesa muntu mulala atali Hajji Zziwa okulisaalimbirako.
Hajji Abdul Kasai
“Ddiiru nagikkiriza era enteekateeka ne zikolebwa okusasula ssente nga tukozesa kkampuni ya Kanaaba kubanga ye yali etaddeyo okusaba mu KCC, Hajji Kanaaba yangamba nti KCC yali omugatte eyagala akawumbi kamu n’obukadde 100 nga naye ayagala obukadde 200 ez’obwa bbulooka ng’omugatte nnina okubawa 1,300,000,000/-“ Hajji Zziwa bwe yannyonnyodde.
Yagambye nti Kanaaba yawa Omuyindi Virani cceeke nga ssente zaakujja luvannyuma
(postdated cheque) olwo ye (Zziwa) n’atandika okuzisasula nga ziva ku akawunti ye nga zigenda ku ya Kanaaba Agencies olwo ne zisasula Viran.
“Ssente zonna kawumbi kamu n’obukadde 300 nazisasula ne ziggwaayo era KCC n’efulumya ekiwandiiko ekimpa ettaka, Hajji Kanaaba n’akindeetera.
Ettaka yaliko obugazi bwa deesimoolo 43 wabula oluvannyuma yakima ekiwandiiko n’agamba nti KCC yali ekyetaaga okubaako by’etereeza wabula kyagenda okudda ng’akisazeemu poloti bbiri, poloti nnamba 43 agiwadde deesimoolo 25 ne poloti nnamba 3941 ng’eri mu mannya ge ya bugazi bwa deesimoolo 18.” Hajji Zziwa bwe yannyonnyodde.
Yeekubira enduulu mu basuubuzi okwali omugenzi Bulayimu Muwanga Kibirige (BMK) n’omugenzi Hajji Mubarak Ngobya kyokka ne bamuwabula asooke agobe liizi ya poloti 43 nga bw’alwana okununula ekitundu ekitwaliddwa.
Oluvannyuma, agamba yafuna liizi ya myaka etaano ng’eggwaako mu 2010 kyokka KCC yalemwa okuggya abantu ku ttaka. Mu 2007, yafuna pulaani y’okulikulaakulanya
n’ekakasibwa KCC kyokka engeri gye kwaliko abantu yali tasobola kuzimba.
Yaddayo n’afuna endala mu 2010 era eyali Town Clerk mu iseera ebyo, Ruth Kijjambu ye yagimuwa kyokka nga ku ttaka kukyaliko abantu musanvu abaalina kuggyibwako.
“ Bano nnabasasula obukadde 400 olwo ne ntandika okubeera ku ttaka lino July 2013 nga wasigaddeyo ebbanga ttono liizi okuggwako,” Zziwa bwe yagambye.
Mu 2014, annyonnyola nti yaddayo mu KCCA (yali emaze kukyuka) n’asaba okuzza liizi ye obuggya kyokka Caleb Mugisha n’amuwandiikira ng’amugamba ti waliwo omusango ogwali mu kkooti bannannyini poloti eziri ku paaka enkadde gwe baali baloopye KCCA nga tebayinza kugaba liizi mu budde obwo.
Yatwala omusango mu kkooti ng’aloopa KCCA okugaana okuzza obuggya liizi ye kyokka omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa emisango gy’ettaka, John Eudes Keitirima n’agugoba mu 2021.
Mu January 2024, bazzeeyo mu kkooti oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti Hajji Kanaaba yabadde ataddeyo okusaba mu KCCA bazze obuggya liizi ye ku poloti 3941 nga ne poloti 43 nayo agigasseeko era omusango guno, gwe gwavuddemu ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza KCCA, Kanaaba n’abantu be okubaako kye bakolera ku ttaka.
Hajji Zziwa nga tannagenda mu kkooti, yagambye nti Hajji Kanaaba ye yasooka okutwala KCCA mu kkooti ng’agivunaanaokugaana okuzza liizi ye obuggya wabula balooya be (Zziwa) bwe baasaba okubagatta ku musango, kkooti yagaana ne babagamba baloope ogwabwe.
“Okumanya omupango munene ne KCCA egulimu, nga July 24, 2024, kkooti yawa ekiragiro obutafulumya liizi, nga waakayita ennaku bbiri zokka, KCCA yafulumya ekyapa nga tekisasuddwa, ssente zaakyo zaasasulwa December 11, 2024 ekintu ekimenya amateeka,” Hajji Zziwa bwe yagambye.
KCCA okufulumya ekyapa, kyaddirira Minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda okugiwandiikira ng’agiragira okuzza obuggya liizi ya Hajji Kanaaba.
Hajji Kanaaba bwe yatuukiriddwa yagambye nti ensonga zino ziri mu kkooti tasobola Hajji Abdul Kasai kuzogerako.
Shafiq Nsubuga
"Kyeneewunya, natwala obujulizi bwange bwonna ewa Minisita Minsa Kabanda ne mbumuwa era ensonga z'ettaka lino azimanyi bulungi era mbadde nsasula ground rent ne property rate okuva mu 2005 okutuusa essaawa ya leero sibangibwa wadde ekikumi, lwaki alagira ettaka lyange liweebwe Kasai." Zziwa bwe yebuuzizza.
ALUMIRIZA RCC OBUTAMUYAMBA
Hajji Zziwa yagambye nti bwe yafunye ekiragiro kya kkooti, yagenze ew’omumyuka wa RCC wa Kampala, Ali Shafiq Nsubuga okumuyamba okuteeka ekiragiro kya kkooti mu nkola wabula n’okutuusa kati akyalinze tekikolebwanga.
Yagambye nti Nsubuga yawandiikira kkooti nga August 25, 2025 ng’agisaba ennyonnyole ani gwe yabadde etegeeza okusigala ku ttaka wakati wa Zziwa ne Kanaaba nti kkooti n’emuddamu nti Zziwa kyokka yalaba tayambibwa kwe kwesitula n’agenda ewa Hajji Yunusu Kakande atwala Nsubuga yeekubire omulanga era Hajji Kakande n’awa ekiragiro ayambibwe mu bwangu.
Nga September 24, kkooti yayanukudde ebbaluwa ya Nsubuga era omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti, Samuel Kagoda Ntende n’amutegeeza nti Zziwa kkooti gwe yalagidde abeere ku ttaka kubanga alibaddeko okuva mu 2005.
Nsubuga bwe yatuukiriddwa yagambye nti tagaana ngako kuyamba Zziwa, era ekiragiro ekyamuweebwa yakiteekesa mu nkola n’alagira DPC wa CPS eyabaddewo, Martin Okoyo okugenda ku ttaka kyokka agamba Zziwa ettaka baalimuwambako dda era baasanze nga Kanaaba wonna y’akozesaawo. Nga October 8, kkooti era yawandiikidde akulira bambega ba CPS n’emutegeeza nti Zziwa y’alina obuyinza ku ttaka