KKOOTI esattuludde obufumbo bw’abasomesa ababadde bamaze emyaka 33, omusajja alumiriza omukazi omusuulirira ku nsonga z’omu kisenge n’okumuboggolera.
Benon Ndyanabo nga yawummula egy’obusomesa ku mutendera gw’akulira essomero,ye yaddukira mu kkooti ng’ayagala kkooti emalewo obufumbo bwe ne Enid Hilda Mpirirwe Kesiime gwe yali amaze naye emyaka egisoba mu 30 n’amulumiriza okumumma akaboozi, emmere ssaako okumulemesa okukozesa ku bintu by’awaka kw’ogasse okubeera n’emize gy’okweraguza.
Kyokka omulamuzi yagaanye okukkiriza ebyokweraguza kubanga Ndyanabo teyabireetako bujulizi.
Okusinziira ku mpaaba ya Ndyanabo, baagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu 1993 kyokka baakoma okubeera ne Mpirirwe mu 2019 era buli omu n’atandika kubeera yekka.
Omulamuzi Karoli Lwanga Ssemogerere yasattuludde obufumbo buno n’agamba nti abafumbo okumma munno akaboozi kimuleetera okwekyawa bw’atyo ne yeesigama ku byateekebwamu Ndyanabo kubanga Mpiirirwe teyassaamu kwewozaako kwe wadde nga yaweebwa ebiwandiiko bya kkooti.
Omulamuzi bwatyo alagidde Ndyanabo atwale ebitundu 70 ku 100 ku by’obugagga bwe balina ng’abafumbo ate omukazi atwale ebitundu 30. Yabalagidde emmaali bagitunde mu myezi 12 bagabane ssente.