Omukozi gwe baawa ssente za kkampuni obukadde 3 okuzitwala mu bbanka n’azibba akkirizza omusango, asabye bamukkirize aliwe bamusonyiwe.
Micheal Okedi, omukozi mu kkampuni ya Hygiene Consultants nga atuusa ebyamaguzi ku bantu (delivery person) baamuwa ssente ne ceeke azitale mu bbanka naye yatuusaayo ceeke yokka.
Yabadde mu maaso g’omulamuzi Nicholas Aisu n’asaba bamusonyiwe aliwe. Baamulagidde aliwe obutasukka October 15, bw’alemwa bamusalire ekibonerezo. omuwaabi wa gavumenti yasabye Okedi bamuwe ekibonerezo ekikakali kubanga abakozi basusse okubba bakama baabwe ababawa emirimu.