FAIMA Wandera 25, omukozi mu ssaluuni, bba gw’alumiriza okubba ssente ze, poliisi emukukunudde Mbale gy’abadde yeekwese, kkooti n’emusindika e Luzira.

Faima mu kaguli ka kkooti.
Ono yasimbiddwa mu kkooti ya City Hall ew’omulamuzi Nicholas Aisu n’akkirizza okubba ssente obukadde 2 n’emitwalo 35 ssaako essimu ya mapeesa nga byonna byali bya bba Marvin Wasswa.
Wandera yakkirizza nti baali bafumbo ne Wasswa kyokka bwe baafuna obutakkaanya n’abba kapito wa “Mobile money” n’akasimu ke baali bakozesa n’adduka. Alinze kumusalira nga October 15, 2026.