EKIKANGABWA kigudde e Kamuli, omwana w'ekibiina eky'Okutaano bw'afiiridde mu muliro ogukutte ekisulo mw'abadde.
Ebintu by'omu ddoomu byonna byasirisse ne biggwaawo.
Enjega eno egudde ku ssomero lya Balawoli P/S e Kamuli, omuliro bwe gukutte ekisulo ky'abaana okukakkana ng'omwana Benard Famba 12, mutabani wa meetulooni w'essomero eryo afiiriddemu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Micheal Kasadha, ategeezezza nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku masannyalaze era basobodde okuguzikiriza kyokka ng'omwana afudde n'ebintu ebiwerako ne bitokomokera mu muliro guno, ogukutte ekisulo ky'abaana abalenzi.
Engeri omuliro gye gwabadde gutetamu.