POLIISI eragidde abavuzi ba bodaboda abatasiba bikoofiira kunywera ku mitwe (helementi) nti nabo bakusasula engassi mu bibonerezo ebipya ebireeteddwa mu kulwanyisa obubenje.
Mu nkola eno, n'abavuzi ba ttukuttuku, nabo babalagidde okwambala helementi. Mu ngeri y'emu omwana ali wansi w'emyaka 12, takkirizibwa kutuula ku mutto gwa mmotoka ogw’omu maaso okuggyako emabega ate n’asiba olukoba.
Omwana ali wansi w'emyaka etaano mu mmotoka, alina kuteekebwa mu katebe (car seat) oba ekibaya so so kumutuuza ku mutto gwa mmotoka.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura ategeezezza nti oyo yenna, anaakwatibwa ng'ataataaganyizza namba puleeti empya eza digito, naye waakuweebwa ebibonerezo ebikakali mu nteekateeka empya.
Annyonnyodde nti enkola ya kkammera okukuba ekifaananyi avuze obubi , obubaka ne bugenda ku ssimu ye, egenda kusookera ku abo abavuga endiima n'abayita ku bitaala.