BW’OTUUKA mu munisipaali y’e Mityana olaba enkulaakulana y’ebizimbe, wooteeri, amasomero, amalwaliro, amaduuka gaggadde n’ebifo ebisanyukirwamu. Enkulaakulana eno tegudde bugwi, wabula ezze etambulira ku bantu ssekinnoomu abaliko ettoffaali lye batadde ku nkulaakulana y’ekitundu. Munisipaali yatandika July 1, 2015 oluvannyuma lw’okugatta eyali Mityana Town Council n’eyali eggombolola y’e Busimbi ne bikola ekibuga ekinene.
Faustin Mukambwe Lukonge ye mmeeya wa Munisipaali ekolebwa divizoni essatu okuli; Busimbi ekulemberwa Daudi Malagala, Ttamu ekulemberwa Bazzeketta Lukyamuzi ne Central eya Fred Wotonava. Francis Zaake ye mubaka wa Palamenti
akiikirira munisipaali.
Mu kibuga kino mwe musangibwa embuga y’essaza lye Ssingo, embuga ya Walumbe e Ttanda, ekitebe ky’Obulabirizi bwe Mityana ne Lutikko y’essaza ly’Eklezia erya Kiyinda-Mityana.
EMIKISA GY’OKUFUNA MU MUNISIPAALI
Malagala yagambye nti ekibuga kyeyagaza kuba kirimu enkulaakulana kyonna era nga
mukyalimu n’emikisa mingiegy’abantu okukoleramu ssente.
“Ekisooka ekibuga kyaffe kikyalimu ebibangirizi omuntu mw’asobola okuteeka ekika kya bizinensi yonna nga wooteeri, ekkolero ate nga n’ebbeeyi y’ebintu si ya buseere kuba ennyumba gy’ogula obukadde 100 bw’ogenda e Mukono bagikuguza 500,” Malagala bw’agamba.
Bino byongereza ku masannyalaze, amazzi g’emidumu, obutebenkevu, enguudo za
koolaasi ezikolebwa, amalwaliro okutandikira ku ddwaaliro eddene erya Mityana Hospital, amasomero ga pulayimale, siniya n’amatendekero aga waggulu.
ABALI EMABEGA W’ENKULAAKULANA
John Kintu ‘Agrovet’ y’omu ku bakutte omumuli gw’enkulaakulana. Alina essundiro
ly’amafuta, ettendekero ly’abasawo erya Mityana School of Nursing and Widwifery, ettendekero ly’ebyobulimi, alina ebyuma by’emmwaanyi bibiri era nga musuubuzi omukuukuutivu mu kibuga. Emmanuel Sembuusi Butebi ye ssentebe w’abasuubuzi b’e Mityana abeegattira mu kibiina kya Mityana Traders Association (MITA). Alina wooteeri mu kibuga okuli; Emirates Hotel, Green Valley, Wamala Lake
View, Emirates Club, amaduuka, awola abantu ssente era nnannyini ssomero lya Ssingo College School.
Haji Abbas Kalule Bukandula, aludde mu by’obusuubuzi era y’akulembera abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Mityana United Traders Association (MUTA). Alina amaduuka agasuubuza ebintu, ebizimbe era ye ssentebe w’olukiiko lwa Buganda
Twezimbe mu kitundu kye Mityana.
Joseph Kasibante y’omu ku basuubuzi ab’amaanyi; alina ebyuma bya kasooli
n’ebyemmwaanyi, amasundiro g’amafuta (2) n’eddwaaliro ly’obwannannyini lye yazimbye ku Station Road.
Jane Nakalema ne Fred Nakabaale baazimba biici galikwoleka eyitibwa
Smart Beach e Bukanaga okumpi n’ennyanja Wamala. Haji Abubaker Sserunkuuma
owa kkampuni ya Ahuu ekola ebyokunywa era ng’alina n’ebizimbe by’obusuubuzi ebiwera mu Mityana.
Ng’oggyeeko abantu ssekinnoomu, essaza lya Kiyinda - Mityana lireese enkulaakulana
ewera mu kitundu nga bazimba ebizimbe n’enteekateeka z’okwekulaakulanya nga bayita mu kitongole kya Caritas n’okulunda ente nnusubulaaya mu nkola ya ‘Integrated Cow Project’.
Ekkanisa ya Uganda nayo ebadde nsaale mu kuzimba ebizimbe by’obusuubuzi, n’okusikiriza amatendekero aga waggulu nga Ndejje yunivasite okuteekayo ettabi n’ebitongole ebirala ebikulaakulanya abantu.
EBYENJIGIRIZA N’EMIZANNYO
Munnabyamizannyo Bastu Ssemuyaba era omukiise wa Mityana ku lukiiko lwa FUFA yagambye nti waliwo abantu abazimbye ebyenjigiriza n’emizannyo mu kitundu. Godfrey Mbalire nnannnyini Mityana Modern SS amaze emyaka egisoba mu 30 mu kisaawe ky’ebyenjigiriza. Minisita wa Kabaka owa Gavumenti z’ebitundu Joseph Kawuki owa MUMSA High School, Sylivia Namabidde yasomesa okumala ebbanga ddene era alina essomero lya St. Elizabeth Girls School, Lawrence Sennyondo owa Central College Mityana n’abalala.
Gumira Kizito owa Mityana Pride Secondary amanyiddwa olw’okutumbula ebyemizannyo n’okugunjula abayizi ababa bavudde ku mulamwa. Lovinsa Namigadde akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti, Jane Ssennoga asomesezza abantu bangi, David Musisi Ssekirevu eyali omusomesa w’olulimi Oluganda omukuukuutivu. Haji Salim Kajubi nnannyini Mityana Town Secondary era alina ebizimbe ebiwera mu kibuga ne Ponsiano Nkanyuze owa St. Kizito Primary School