KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okukola kyonna ekisoboka abaana baleme kuva mu masomero nga kyakuyamba okutumbula eby’enjigiriza.
Obubaka buno yabuwadde ku mukolo kweyatongoleza enteekateeka y’Oluwalo 2023 abantu okuva mu maggombolola ag’enjawulo mu Buganda mwebakiikira embuga okuleeta ensimbi eziramba ku nzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka.
Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku Susan Tiisa Mugwanya, atwala emirimu gy'Obwakabaka mu Australia
“Nga tutandika omwaka guno kirungi ne twOngera okussa essira ku by’enjigiriza ng’abazadde bafuba okulaba ng’abaana baabwe tebava mu ssomero kubanga bwogenda ku kyalo n'oggyayo amaka agabasomyeko n’agatalimu abatasomako,waliwo enjawulo. N’olwekyo tusaanye okuggyawo endowooza egulumiza abagagga abamu nti wadde tebaasoma naye bali bulungi wabula buli mwana asaanye asome,” Mayiga bweyategezezza.
Katikkiro yeebazizza Omumyuka ow’okubiri owa Ssebwana Vicent Kayongo olw’ekirowoozo kyayaleeta amagombolola gonna gakiikenga embuga okugula satifikeeti mu ngeri ey’omugundu mu 2015 mu kiseera bweyali akyali ow’eggombolola Ssabagabo Nsangi- Busiro.
Kayongo yatandika okukulembera Nsangi mu 1995 okutuusa Kabaka lweyasiima mu 2019 n’amuwa okubeera Omumyuka wa Ssebwana era agamba nti ng’akyali e Nsangi baalinga bakiika e Mmengo mu nkola y’okugula satifikeeti.
Ku mukolo guno,Mayiga kweyakwasiriza ebirabo eri abo abaasinga okukola obulungi mu luwalo 2022 ng’eggombolola Mutuba III Makindye-Kyadondo yakwasiddwa ekyuma ekifulumya empapula,kompyuta saako ebbaluwa ebasiima olw’okusinga amaggombolola amalala okukunganya oluwalo olwawera 63,205,000/-.
Enju ya Ssepiriya Mukasa e Kasanje mu Ssabaddu Bukoto-Buddu omuva Katikkiro Mayiga nga yakulembeddwamu omusika waayo James Kizito Sseremba yakwasiddwa ekirabo ky’okusinga enju ezivaamu abaami mu kuleeta oluwalo.Janan Schools yeyasinga amasomero amalala,ekitongole ky’abakyala e Busiro ky’ekyasinga mu bitongole by’Obwakabaka, Ankole yasinga amasaza amalala agali ebweru wa Buganda,ate Northern California San Francisco nerisinga ag’ebweru.
Ab’e Buddu okuva mu maggombolola okuli Kirumba,Kitanda n’amalala baaleese ensimbi 27,362,700/-,Omubaka Medard Ssegona 1,000,000/-ate Mumsa High School 5,041,500/- ng’ensimbi zonna ezaaleteddwa eggulo ziri 34,710,400/-
Ssegona nga ye Mubaka wa Busiro East yasabye Katikkiro ayongere okuyigiriza abantu ba Buganda okuyiga okubeera n’obukakkamu saako okuwuliriza abantu abakulu byeboogera okufananako n’abantu mu bukiikakkono abalina abantu ab’ensonga nga bweboogera,ababali wansi bagoberera bugoberezi.
Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Joseph Kawuki yategezezza ng’oluwalo 2022 bwerwavaamu ensimbi 1,038,947,319/-era neyebaza abaami ku mitendera gyonna olw’okukunga abantu n’asaba ate omwaka guno basingewo.C