KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga yeebazizza Obuganda olw’okuwaayo ensimbi 1,504,019,014/- okuzimba n’okukulaakulanya Obwakabaka bwabwe era n’abasaba obutalekeraawo nkola y’oluwalo kubanga eggyayo omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Eggulo Mayiga lwe yaggaddewo enkola y’oluwalo 2023 e Bulange n’okutikkula abaavudde mu ssaza ly’e Busiro, okuli eggombolola y’e Kkingo-Buddu, Mutuba lll Makindye - Kyadondo e Bulange-Mmengo olwaweze 108,979,240/-.
“Ensimbi zino Ssabasajja yasiima tuzikoze emirimu egizimba Obuganda nga ebyenjigiriza. Nkakasa mwandaba ku nkomerero y’omwezi oguwedde nga nzigulawo ekizimbe Kkangaawo Matumpaggwa ku Bbowa Vocational SS, okunyweza ensawo ya Kabaka ey’ebyenjigiriza, ebyobulamu, tuli mu kulwanyisa mukenenya,” Mayiga bwe yategeezezza.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki yategeezezza nti omwaka guno wabaddewo okweyongera mu kuvuganya wakati mu masaza, amagombolola, ebibuga, disitulikiti n’agamba nti omwaka ogujja baagala kyeyongere.
Amasaza agali ebweru wa Uganda gaakoze New England (Boston) Massachusetts 21,250,000/- Bungereza 8,528,100/-, Northwest Pacific America (Seattle) 7,000,000/-, South West America (Texas) 4,403,332/-, North west Coast America (Los Angeles) 3,819,240/-, Scandinavia 3,500,000/-Rocky Mountains 1,650,000/- ne Rhinelands 150,000/-.
Amasomero agakulembeddemu mu kuleeta oluwalo kuliko St. Janan Schools 30,000,000/- Mumsa H/S Mityana 6,949,500/-, Hormisdallen schools 3,000,000/-.
Ku bibuga Masaka 10,260,000/-, Kajjansi TC 1,000,000/-, Katabi TC 1,000,000/- ate abasuubuzi b’emmwaanyi okuli ab’e Buddu 15,000,000/-, Gomba 6,100,000/- olw’ebitongole mu masaza okuli eky’abakyala Busiro 3,790,000/-, Kyadondo 3,660,000/- ne Bulemeezi 2,743,000/-.