Kigongo NRMKigongo akuutidde abaakwasiddwa omulimu gw’okukola ku nkalala za bammemba

OMUMYUKA asooka owa ssentebe w’ekibiina kya NRM, Alhajji Moses Kigongo alabudde abaakwasiddwa obuvunaanyizibwa bw’okuteereza enkalala z’ekibiina ez’okulonda, obutakukusa mannya gatali ga bannakibiina mu nkalala zino.

Alhajji Kigongo
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUMYUKA asooka owa ssentebe w’ekibiina kya NRM, Alhajji Moses Kigongo alabudde abaakwasiddwa obuvunaanyizibwa bw’okuteereza enkalala z’ekibiina ez’okulonda, obutakukusa mannya gatali ga bannakibiina mu nkalala zino.
Era yabakuutidde okukola omulimu omuyonjo kuba gwe gugenda okusiinzirwako okutegeka akamyufu k’ekibiina mu bwenkanya. Yabadde ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala, kwe yasimbulidde ekibinja ky’abavubuka abagenda okubuna eggwanga nga bakola ku nkalala ez’enkomeredde ez’ekibiina.
Baakuyingiza amannya g’aba mmemba b’ekibiina abaawandiisiddwa mu nkalala z’abalonzi ez’oku mitimbagano n’okwawula amannya g’abo abagenda okulonda. Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Richard Todwong agamba omulimu gwetaaga okwekenneenya era tebaagala wabeewo kavuyo mu kamyufu k’ekibiina ng’obuzibu buva ku nsobi ezaakolebwa mu nkalala z’ekibiina