ABASUUBUZI ababadde bawanise ebintu byabwe n’okutundira ku kibaati ekyakubiddwa omugagga Bosco Muwonge ku kimzibe kya City Base Complex edda eyali Mukwano Arcade bakiguddeko, abaserikale ba KCCA new babagobyeko nga bagamba nti bakolera mu kifo eky’obulabe.
Omu ku basuubuzi nga yeegayirira owa KCCA obutabowa bintu bye.
Bino byabadddewo ku Mmande, abaserikale bwe baagenze e Nakivubo ku kizimbe kya City Complex omugagga Muwonge kye yakubyeko ekibaati ekitundu ne basanga nga waliwo ababadde bawaniseeko ebintu byabwe ne babalagira okubiggyawo bagende bakolere awalala.
Hakim Lubega, eyakulembeddemu abaserikale ba KCCA yagambye nti ababadde batundira ku bibaati bino bateeka obulamu bwabwe mu matigga nga ebifunfugu ebiva ku kizimbe kiri mu kumenyebwa bisobola okubagwira ne bakosebwa kwe kusalawo okubagoba.
Abaserikale ba KCCA nga baggyawo abaabadde batunda emifaliso
Yagambye nti baatuukiridde abaddukanya ekizimbe ne bategeeza nti bonna ababadde bakolera ku kitundu ky’ekizimbe ekiri mu kumenyebwa baabafunidde we bakolera nga abali ku kibaati tebabamanyi kwe kusalawo okubagobako bagende awalala kuba baleesewo omujjuzo n’akalipagano.
Yategeezezza nti waliwo ebizimbe ebiri mu kuddaabirizibwa n’okuzimbibwa nga bakubako ebibaati wabula ne bawaawo abakolerako ekintu eky’obulabe.