Amawulire

Abatunzi b'enseenene paloopedde Majembere ababasolozaako  ssente olw'okukolera mu katlale

SSENTEBE wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, adduse za mbwa okugenda mu katale k’e Busega abasuubuzi b’e nseenene bwebamukubide essimu okubataasa ku basajja ababasoloozaamu ssente buli omu 2,000/ okuzitundira mu katale  ate nga pulezidenti Museveni yakabazimbira okukoleramu ku bwereere.  

Majembere ng'ali mu katale e Busega
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

SSENTEBE wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, adduse za mbwa okugenda mu katale k’e Busega abasuubuzi b’e nseenene bwebamukubide essimu okubataasa ku basajja ababasoloozaamu ssente buli omu 2,000/ okuzitundira mu katale  ate nga pulezidenti Museveni yakabazimbira okukoleramu ku bwereere.

Abasuubuzi bakolera mu katale e Busega

Abasuubuzi bakolera mu katale e Busega

Bwatuuseewo, abasuubuzi ne bamulojjera ennaku gyebabayisaamu, agenze mu ofiisi ya KCCA mu katale kano okubuuza ensonga eggyisaako abasuubuzi b’e Nseenene ssente.

Akulira akatale (market master) ku lwa KCCA Adam Waiswa yeegaanye nga bwebataggya ku basuubuzi ssente, abamu ku basuubuzi b’e nseenene nebalumiriza abasajja basatu okubadde; Mirundi Sikaka, Denis Kasumba ne Michael Ssemanda nti beebabasolozaamu ssente ku buli nsawo ya nseenene gyebasuubula, okusobola okutundira ku katale waggulu.

Abalonkomeddwa okusolooza ku basuubuzi b’e nseenene ssente  baleeteddwa  nebateekebwa ku nninga, wabula nebibakalira ku matama kwekulagira poliisi y’e Busega ng’ekulembeddwa agitwala Bonefansi Mabutu okubakwata, nebatwalibwa ku poliisi y’e Busega webaaggyiddwa nebatwalibwa ku poliisi y’e Nateete gyebaggaliddwa nga bwebalondoola emisango gyabwe.

Majembere ng'ali mu katale e Busega

Majembere ng'ali mu katale e Busega

Abasuubuzi balombojjedde Majambere ennaku gyebayitamu, nti ate n’amagoba gebafuna ku nseenene ate bano bagabatwalako, bamusabye okwogerako ne KCCA ebakkirize okuziztundira wansi w’akatale okuva waggulu gyebazikongolera nti kubanga yo abaguzi batono abambukayo.

Ayogereganyizza n’akulira akatale ku lwa KCCA, ab’e Nseenene nebakkirizibwa okutundira wansi,  kuba waggulu abaguzi tebambukayo, wabula abakulira akatale nabo bategeezezza ng’ableeta ensenene bwebatagoberera mateeka, bazitikkulira mu luguudo wakati ekitataganya emirimu emirala, nabo Majambere nabalagira okutikkuliranga mu lujja lw’akatale ssi ku kkubo.

Abasuubuzi b’e nseenene abasuka mu 200 ababadde bazikongolera waggulu w’akatale mu paaking, Majambere abalagidde obutaddamu kusasula muntu yenna ssente, kubanga akatale pulezidenti Museveni yaakabazimbira ku bweerrere,  tewali nsonga lwaki babasasuza.

Omu ku bakwate abadde asolooza ku basuubuzi b'e Nseenene mu katale k'e Busega ssente

Omu ku bakwate abadde asolooza ku basuubuzi b'e Nseenene mu katale k'e Busega ssente

N’alabula okufaafagana n’abantu ssekinoomu abeenoonyeza ebyabwe ate nga batataganya enkola za gavumenti nti kubanga pulezidenti akatale yaakawaayo ku bwereere ate bano nebakozesa olukujjukujju okubasolozaamu ssente.

Omu ku bakwate ategeezezza nti, banne beebamusomedde ddiiru y’okusolooza mu basuubuzi b’e nseenene ssente  era asangiddwa n’ekitabo mwawandiika ssente zaaba asoloozezza.

Baagguddwaako omusango gw’okutwala ssente mu lukujjukujju oguli ku fayiro 67/20/11/2025 ku poliisi e Nateete.

Tags: