Judith Heard awangudde engule ya Afrika n’akukkulumira minisitule y'ebyobulambuzi

Omwolesi w’emisono , Nnaalongo Judith Heard akukkulumidde minisitule y’ebyobulambuzi olw’obutayamba ku bantu ababa bagenda okukiikirira eggwanga mu bintu eby’enjawulo.

Nnaalongo Judith Heard n'engule ye.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Judith Heard

Bya IGNATIUS KAMYA 

Omwolesi w’emisono , Nnaalongo Judith Heard akukkulumidde minisitule y’ebyobulambuzi olw’obutayamba ku bantu ababa bagenda okukiikirira eggwanga mu bintu eby’enjawulo. 

Okwogera bino abadde mu lukung’aana lw’abannamawulire olubadde ku wooteeri ya Sheraton mu Kampala nga yaakava mu ggwanga lya Misiri gye yawangulidde empaka z’okwolesa emisono eza Miss Elite Africa 2021- 2022. 

Empaka zino za nsi yonna era nga zibaddemu aboolesa emisono, abayimbi, abazannyi ba katemba, bannalulungi b’ensi yonna n’abalala.

Ono ategeezezza nti yagezaako okutuukirira minisitule eyo okulaba nga bamuyambako mu lugendo lwabaddeko wabula teyafunayo kantu kyokka nga yagenda n’awanika bbendera y’eggwanga waggulu. 

Judith ategeezezza nti olwa kino kye yatuuseeko waakwongera okulaba ng’alwanirira eddembe ly’abakyala obutabalekebwa mabega.