Bya Ignatius Kamya
EBBUGUMU lyeyongedde mu kivvulu kya mwana muwala Spice Diana abantu bwe bongedde okugula emmeeza.
Okusinziira ku maneja we, Roger Lubega w’osomera bino ng'emmeeza wasigaddewo ntono ddala anti abantu bongedde okuzeettanira nga kyenkana buli lunaku olukya abantu abasukka mu basatu bamukubira amasimu nga baagala kugula mmeeza.
Spice Diana Ng'ali Ku Bbaala Ya Blue Moon Abaguze Emmeeza
Olwaleero Spice agenze mu bantu abaguze emmeeza okuli; ebbala ya Blue Moon esangibwa e Kansanga, Abrayans, Judith Heard n’aba Middle East Restaurant esangibwa e Bukoto.
Spice Diana asuubiza abawagizi be okubawa ekisinga kubanga yeetegese bulungi ate nga ne managimenti ye ekoze buli kimu okulaba nga bakola ekivvulu eky’ebyafaayo.
Ekivvulu kya Spice Diana kyakubaayo nga 13 January 2023 ku Cricket Oval e Lugogo era nga kkampuni ya Vision Group ekitaddemu ssente.