Omumyuka wa ssentebe w'akakiiko kano, Juliana Cherera agambye nti ku ssaawa 12:00 ez'oku makya okulonda kwabadde kutandise mu bifo ebisinga obungi mu Kenya n'eri Bannakenya ababeera ebweru.
Okulonda eri Bannakenya ababeera ebweru kuli mu nsi 12 omuli: Burundi, Tanzania, Rwanda, Uganda, South Africa, United Kingdom, Canada, Amerika, Qatar, UAE n'e Germany.
Cherera asinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire nti okulonda kw'epifo ebya wansi kwongezeddwaayo olw'obufaananyi bw'abeesimbyewo obutabadde butuufu n'ategeeza nti okuddamu okubalonda kujja kulangirirwa gye bujja.
Wano wennyini w'ategeerezza nti IEBC ekkirizza okukozesa enkalala z'abalonzi ez'empapula mu masaza okuli Makueni omuli ebifo ebirondebwamu 84 n'e Kakamega omusangibwa ebifo 154 ng'eno mu kusooka gye baabadde bagaanidde Polof. Wajackoyah okulonda olw'akuuma obutasoma kinkumu kye.