Amawulire

Hadijah Namyalo akubye abayizi Abasiraamu enkata n'abakuutira okkozesa obulungi ekisiibo

ABAYIZI ba yunivasite  abasiraamu abawala n’abalenzi  baweereddwa amagezi okukozesa omwezi gw’ekisiibo kya Ramadhan  omutukuvu okwebulirira bakomye okuganza abasajja abakulu n’abakyala abakulu olw’okuba baagala ssente ez’amangu    

Hadijah Namyalo ng'akwasa abayizi Abasiraamu nga babakwasa eby'assava by'okusiibuluka
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision

ABAYIZI ba yunivasite  abasiraamu abawala n’abalenzi  baweereddwa amagezi okukozesa omwezi gw’ekisiibo kya Ramadhan  omutukuvu okwebulirira bakomye okuganza abasajja abakulu n’abakyala abakulu olw’okuba baagala ssente ez’amangu.

Abasiraamu nga babakwasa eby'okusiibulukuka

Abasiraamu nga babakwasa eby'okusiibulukuka

“Basiraamu bannange abakyali mu masomero njagala okubakakasa nti temulina kibapapya nakwettanira kuganza basajja bakulu mwe abawala ate abalenzi okuganza abakyala abakulu abalina ssente olw’okuba mwagala obulamu obulungi kyokka nga mwerabidde nti bw’omala okusoma n’oyita bulungi Allah nakuteekako omukono gwe ogw’ekiisa buli ky’obadde oyaayanira okufuna mu bungi n’okusinga ebyo abasajja abakulu oba abakyala abakulu bye baali bakulimba nabyo” Bwatyo akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo bweyategezezza abayizi ba yunivasite ez’enjawulo mu Kampala bweyabadde agenze okutwalira eby’okusibulukukka.

Abasiraamu nga bafuna eby'okusiibuluka

Abasiraamu nga bafuna eby'okusiibuluka

Namyalo ku Mmande yasiibye atalaaga yunivasite z’omu Kampala zonna ng’asiibulula abayizi ba yunivasite ez’enjawulo  abasiraamu ng’abawa ebintu omuli omuceere, sukaali, butto, engaano, emigaati ne kalonda omulala  nga yatandikidde ku yunivasite y’e  Kyambogo, MUBS e Nakawa, IUIU e Kibuli, KIU e Kasang  ne KU esangibwa e Gganba.

Abayizi Abasiraamu nga babakwasa eby'okusiibulukuka

Abayizi Abasiraamu nga babakwasa eby'okusiibulukuka

Namyalo yawadde abayizi bano amagezi nti balina okukomya okutambuliza obulamu bwabwe mu ngeri ey’okuvuganya nga kino basobola okukikola nga beebuliridde mu mitima gyabwe naddala  nga bakozesa ekiseera kino eky’ekisiibo kya Ramadhan eky’omwezi omutukkuvu Allah mwaweera empeera ennyingi ennyo eri buli oyo amulaajanira ng’ayagala okumanya, okutegeera n’okusonyiyibwa kubanga kino kyokka kyekinabayamba okuva mu matendekero gano ge balimu nga tebakwatiddwa siriimu.

Hadijah Namyalo ng'abuuza ku bayizi Abasiraamu

Hadijah Namyalo ng'abuuza ku bayizi Abasiraamu

 “Mbadde siyinza butayambako kusibulula bayizi ba yunivasite kubanga abasinga  nkimaanyi bayita mu mbeera mbi ng’ate mwavaayo dda mu bazadde mwesuza n’oluusi temulina busoboozi olw’ebyetaago ebingi amatendekero byegabasaba n’abamu ne kiviirako okubalemesa okusiiba” Namyalo bweyategezezza.

Ku yunivasite y’e Kyambogo,  Namyalo ebintu yabibakwasiriza ku muzikiti gwa Masjid Aisha,  gye yavudde n’agenda ku MUBS ku masjid Noor nadda IUIU , KIU n’amalira ku KU  e Ggaba.

Abayizi Abasiraamu nga bali mu nsisinkano ne Namyalo

Abayizi Abasiraamu nga bali mu nsisinkano ne Namyalo

Akulira abayizi abasiraamu mu yunivasite ya MUBS ,  Isma Walakira era nga y’amyuka katikkiro w’olukiiko olukulira lw’abayizi ku yunivasite eno,  yasabye buli musiraamu alina obusoboozi okulabira ku Hajjat Namyalo okuvaayo n’abaduukirira abantu abasinga abasiibulula abasiraamu kye beerabira okuteeka mu birowoozo kubanga balowooza nti bo tebetaaga kuduukirirwa kyokka nga balina abayizi bangi abalemererwa okusiiba olw’okubulwa eby’okusibulukuka.

Hadijah Namyalo ng'ali mu nsisinkano n'abayizi ba University Abasiraamu

Hadijah Namyalo ng'ali mu nsisinkano n'abayizi ba University Abasiraamu

Walakira yebazizza Pulezidenti Museveni okulowooza ku basiraamu n’alonda Hajjat Namyalo mu kifo eky’obuvunaanyizibwa okukulira offiisi ye nga ssentebe wa NRM mu ggwanga lyonna mwasoboledde okuyita okuduukirira bannayuganda bonna nga tasoosodde oba basiraamu oba wa ddiini nddala nga tumulaba nga atalaaga eggwanga ng’awa abantu ebyokwekulaakulanya ebibayamba okubajja mu bwavu.

Tags: