Amawulire

Omukazi asangiddwa ne paasipooti z'Abannayuganda e Soroti poliisi ekyamukunya

Kigambibwa nti omukyala ono, asangiddwa ne pasipooti 261, kkaadi ya ‘yellow fever’ emu ne satifikeeti  eziwerako mu kifo mw'abeera.

Omukazi asangiddwa ne paasipooti z'Abannayuganda e Soroti poliisi ekyamukunya
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi ekyagenda mu maaso n'okukunya omukazi agambibwa okusangibwa ne paasipooti za Bannayuganda eziwerako e Soroti.

Kigambibwa nti omukyala ono, asangiddwa ne pasipooti 261, kkaadi ya ‘yellow fever’ emu ne satifikeeti  eziwerako mu kifo mw'abeera.

Bino, bibadde mu Orwadayi e Soroti, omukyala ono bwe bamusazeeko ne bamusanga ne paasipooti wamu n'ebiwandiiko ebiwerako.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rosoke, agambye nti era bamusanze ne lisiiti z'ekitongole ky'ebyemisolo (URA) era nga bakyagenda mu maaso

Tags:
Soroti
Poliisi
Bannayuganda
Mukazi