OMWANA omulenzi ow'emyezi ena, afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba abazadde mwe babadde bamulese nga bagenze okulima.
Enjega eno, ebadde ku kyalo Busilaka mu muluka gw'e Bukuto mu Ggombolola y'e Namitsa mu disitulikiti y'e Namisindwa , omwana Kashon Biketi { 4 month } bw'afiiridde mu muliro enkya ya leero.
Ono mwana wa Benard Biketi era okufiira mu muliro, nnyina Violet Nelima abadde agenze mu nnimiro ng'awaka aleseewo abaana okuli ow'emyaka ena n'omulala ow'emyaka 3 era nga bbo babadde mu luggya nga bazannya.
Omwogezi wa poliisi e Mbale , Rogers Taitika, agambye nti mu nnimiro, abazadde gye babayise ng'ennyumba etuntumuka nti bagenze okutuuka ng'omwana asiridde n'ebyomu nnyumba byonna.