AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM Hajjat Hadijah Namyalo azzeemu okukakasa bannayuganda nga Pulezidenti Museveni bw’agenda okuddamu okwesimba ku kifo ky’obwa Pulezidenti mu 2026.
Namyalo yagambye nti ye teyeerya ntama era naddamu okukinogaanya ekibiina kya NRM tekirina muntu mulala yenna gwekigenda kuleeta kwesimba ku kya Pulezidenti okuggyako Museveni kubanga obwa Pulezidenti bwa Uganda si bwa Kabaka era tebabusikira.
“Ensonga zetwogerako ssaawa eno za ggwanga omuli obukadde n’obukadde bw’abantu, era lino eggwanga lya ddembe buli omu akkirizibwa okweronderawo ani Pulezidenti we gwayagala naffe aba NRM twagala Museveni akomewo atukwattire bendera si muntu mulala bano betulaba bagenda batusiibako” Bwatyo Namyalo bweyategezezza.
Namyalo bino yabyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe kya offiisi wa ssentebe wa NRM e Kyambogo eggulo bweyabadde ayongera okukaatiriza ensonga lwaki Museveni akomawo ku bwa Pulezidenti.
Yagambye nti Museveni asaana okubeera eky’okulabirako mu byobufuzi bwa Uganda kubanga ye akulembeza kuteesa ku buli ekigenda mu maaso era ndowooza mwamuwulira nga agamba nti abo ba Kyagulanyi baggye tuteese nina emirimu gyabwe.
“Nsaba omuntu yenna alina omuntu we gwawulira nti asobola okuvuganya mu kalulu ne Museveni amuleete tuyite mu mitendera gyonna zabike emipiira” Namyalo bweyakattiriza.
Yasabye ssaawa zino essira bannayuganda basinge ku lisimba ku nkulaakulana bannayuganda bonna ng’awamu gye banafunamu okusobola okubaggya mu mbeera y’obwavu gyetuyitamu.