Gavumenti etaddewo akawunti abeebibanja okusasula obusuulu bw’ettaka

GAVUMENTI egguddewo akawunti, abeebibanja kwe bagenda okutandika okusasula ssente za busuulu kimalewo entalo   n’embiranye wakati waabwe ne bannannyini ttaka ababadde batazikkiriza.

Minisita Nabakooba (wakati) ng’awa ebiragiro eri abatuuze ku ttaka eryaliko enkaayana e Mityana.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI egguddewo akawunti, abeebibanja kwe bagenda okutandika okusasula ssente za busuulu kimalewo entalo   n’embiranye wakati waabwe ne bannannyini ttaka ababadde batazikkiriza.
Akawunti yassiddwa mu bbanka ya Uganda enkulu era abalina amasimu basobola okusasulira ku ssimu zaabwe nga tebatawaanye kugenda mu bbanka. Kino
kizzeewo nga waakayita wiiki bbiri Pulezidenti Museveni ng’alagidde nti, ekizibu ky’ettaka ku bannannyini  bibanja akinogedde eddaggala.  Wiiki ewedde, minisita w’ettaka Judith Nabakooba yayise Bannamawulire ku ofi isi ye mu Kampala
n’abalambululira engeri akawunti  gye zigenda okukolamu era ’alaga nti, eby’okugoba abantu biweddewo.
Mu kiwandiiko kye yafulumizza,  yataddemu ennamba y’akawunti bannannyini bibanja kwe  bateekeddwa okusasula ssente nga eri 00120088000068. Eri mu  manya ga Ministry of Lands – Ground Rent (Busuulu). Ku ssente ezisasulibwa bannannyini
bibanja, yalaze nti, abalina ebibanja mu City basasula 50,000/-. Abalina ebibanja mu
Munisipaali basasula 40,000/-  Abalina ebibanja mu Town  Council basasula 30,000/-, abalina