ENKAAYANA ku ttaka ly’e Naggulu mu zooni ya Kiwalimu e Nakawa zikyalanda,
abatuuze bwe basse omu ku bavubuka abaabadde babagalidde ennyondo, emitayimbwa n’emiggo abaabalumbye ne batandi kaokumenya ennyumba zaabwe.
Abavubuka abalala munaana baakwatiddwa.
Obulumbaganyi buno bwabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga ku ssaawa
7 ez’ekiro era ng’ennyumba z’abantu eziwerako zaamenyeddwa n’abantu bangi ne batuusibwako obuvune.
Ssentebe wa zooni eno, Ahmed Matovu yagambye nti, ekibinja ky’abavubuka abaalumbye abatuuze bano kyabadde kiweza abantu 70 era baayonoonye
ebintu by’abatuuze omwabadde ffi riigi, DVD okukoona ennyumba ng’eno bwe banyagulula n’ebintu ebirala.
Abatuuze beekozeemu omulimu ne bakwatako abavubuka 9 ne batandika okubakuba emiggo okukkakkana omu ku bo n’afi irayo, ate omunaana poliisi y’e Naggulu n’e Kira Road ne babataasa, 4 ku bo ne batwalibwa ku poliiisi y’e Kira Road ate abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro ly’e Mulago kyokka nga nayo waliyo eyafi iriddeyo.
Matovu yagambye nti, ettaka lino liriko enkaayana wakati n’Abasiraamu b’omuzikiti gwa Musiahu -Din Musiim Community e yunivasite ya ISBAT era olw’enkaayana zino, Minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja yatuuzaako n’olukiiko mu kifo kino n’abaako ebiragiro bye yawa ku nsonga ezikwata ku ttaka lino.
Yagambye nti, ebiragiro bya minisita Mayanja ng’Abasiraamu b’omuzikiti gwa Musiahu -Din Muslim Community tebaabimatira era ne baddukira mu kkooti ng’omusango gubadde gugenda kuwulirwa nga June,30,2025 kyokka babadde tebannaba kuwulira musango guno ate ne balumbibwa ekibinja ky’abantu abaakubye abantu n’okwonoona ebintu byabwe. Omuduumizi wa poliisi owa Kampala metopolitan East, Jonathan Musinguzi yagambye nti, abantu 4 bo abatuuze babakwasiza poliisi era bakuumibwa ku poliisi y’e Kira road ate 4 abalala bakyajjanjabwa mu ddwaaliro eMulago nga bakuumwa poliisi nga bw’ekola okunoonyereza kwayo ku ani