OMULAMUZI wa kkooti ento e Makindye asomye ebyavudde mu kukebera endagabutonde (DNA) ez’abaana Pulofeesa Alhaj Badru Kateregga nnannyini Kampala University be yazaala mu mukyala we omuto Nnaalongo Jolly Shubaiha Kateregga nga biraga nti omwana omu si wa Pulofeesa! Bino biddiridde omusango nnamba 316 of 2024 Nnaalongo Jolly gwe yawawaabira Polof. Kateregga okudduka mu maka gaabwe e Buziga n’obutamulabirira n’abaana baabwe abasatu: abalongo ab’emyaka 11 ne Kigongo ow’emyaka 4 (amannya gasirikiddwa) Wabula wakati mu kuwulira omusango Polofeesa Katerega yassaawo omuziziko ng’agamba nti abaana tabeekakasa nti ddala babe ba mu ntumbwe kubanga alina okwekengera eri
Nnaalongo nti abadde ‘amutikkiramu’ mu bufumbo bwabwe n’asaba kkooti esooke efune obukakafu.
Omulamuzi Opio mu nsala ye yalagira abaana abasatu batwalibwe mu kkebezo lya DNA erya Gavumenti eriyitibwa Government Analytical Laboratory (GAL) e Wandegeya nga
April 8 2025 ku ssaawa 4 ez’oku makya bakeberwe DNA nga ne bazaddde baabwe bombi nabo baggyibweko endagobutonde Olunaku abaana lwe baatwalibwa
e Wandegeya ku DNA, waliwo akacankalano Polof Kateregga lwe yagasimbagana ne Nnaalongo we omulundi ogusoose mu bbanga lya myezi egisoba mu mukaaga okuva
lwe baafuna obutakkaanya mu July 2024 nga kigambibwa nti Nnaalongo yakuba Polof. Kateregga n’amutuusaako obuvune ku mutwe obwamutuusa n’okulongoosebwa ku IHK okutaasa obulamu bwe wabula Nnaalongo ebyokukuba Ssaalongo we yabyegaana.
Polof Kateregga yaggulawo omusango nnamba GEF 306/2024 ku Poliisi nga yeemulugunya ku Nnaalongo okumukuba n’okugezaako okumutta kyokka nokutuusa kati Polof. Kateregga agamba nti Nnaalongo tayitibwanga ku Poliisi wabula yalabiraawo nga Nnaalongo amututte mu kkooti nti yamuleka mu nju n’abaana era nti tabalabirira
DNA EWANDUDDE OMWANA ASEMBAYO
Mu lutuula lwa kkooti ku Lwokutaano, Omulamuzi Charles Opio Kangira yayanjudde ebyavudde mu musaayi mu maaso ga Looya wa Polof Kateregga, Andrew Oloka owa kkampuni ya Muwema & Co Advocates & Solicitors e Looya wa Nnaalongo Jolly, Joseph Murangira owa Kampala Associated Advocates (KAA). Polof. Kateregga ne
Nnaalongo Jolly tebaabaddewo mu kkooti.
Lipoota omuli ebyavudde mu kukebera abaana 3 DNA yafuluma nga May 20, 2025 ng’eriko omukono gwa Immaculate Natukwase era ku lunako olwo lwennyini lwe yaweerezebwaomulamuzi Opio. Kyokka yagisomye mu lutuula lwa kkooti olwatudde ku
Lwokutaano nga June 13, 2025 Omulamuzi Kangira yasomye ebyavudde mu kukubera DNA nga biraga nti abalongo, omuwala n’omulenzi
(amannya gasirikiddwa) nti baana ba Polof. Kateregga abataliiko kuwannaanya kwonna, wabula Kigongo w’abalongo nga ye mwana asembayo obuto (amannya gasirikiddwa) si
mwana wa Polof Kateregga Ebyavudde mu DNA bino, Omulamuzi
yagambye nti kw’agenda okwesigamya ensala mu musango nnamba 316 of 2024 n’asuubiza okuwa olunaku omusango lwe gugenda okuddamu okutojjera. Polof. Kateregga asekera mu kikonde Ebyavudde mu DNA olwafulumye Polof Kateregga nategeeza omusasi ono nti teyali nteekateeka ye okukebeza abaana DNA wabula Nnaalongo ye yamutuusa mu mbeera eno.
“ Bino ebiguddewo Nnaalongo yeenenye yekka kubanga ye yabireeta, era agume kubanga ago ge mazima amatuufu era amazima ameereere kubanga ekitongole ekyakebedde DNA kitongole kya Gavumenti”, Polof. Kateregga bwe yategeezezza omusasi ono.
Yagambye nti Nnaalongo amutuusizzaako obulumi ku mubiri ne mu bwongo so nga yamwagala nnyo n’amukolera bintu bye yali talootangako. eemulugunyizza olwa Poliisi
okugaanira ddala okukola okunoonyereza ku musango gwe yatwalayo nga Nnaalongo amukubye n’agamba nti kasita amazima gavuddeyo ku ky’abaana.
‘NDAGIDDE BALOOYA BANGE BAJULIRE’
Nnalongo asambazze ebyavudde mu DNA Nnalongo Jolly Shubaiha Kateregga mu kwogera ku byavudde mu kukebera DNA mu labalatole ya gavumenti ebyoleka nti omwana omu ku basatu pulofeesa si y’amuzaala, gamba eky’okugenda
ku DNA teyakiwakanyizaawo mu kusooka kubanga teyalina kubuusabuusa kwonna ku
ani taata w’abaana be.
Wabula ssi mumativu okubeera nga DNA yakoleddwa ano mu ggwanga nga
mweraliikirivu ku mitendera egyigobererwa n’obutabeerawo bwerufu mu nteekateeka
ekolebwa mu Uganda okusobola okujikkiririzamu. Agamba yasalawo abaana batwalibwe mu ggwanga lya Amerika gye babeera bakeberebwa engeri gye baazaalibwa eyo nga balina n’obutuuze mu Amerika.
Okusalawo kwe omulamuzi teyakutunulamu era n’asalawo DNA okukolebwa
mu labalatole ya gavumenti n’akakasibwa nti bw’anaabeera
tamatidde n’ebinaava mu kukebera ajja kuba wa ddembe okujulira.
Yakkiririza mu kusalawo kwa kkooti n’akwatagana nayo mu nteekateeka eno naye ebyavudde mu kukebera ssi mumativu nabyo era awakanya amazima n’obutuufu bwabyo nga kuno kwotadde obutabeera mumativu n’emitendera yagobereddwa okufulumya
ebyavuddemu.
Alina ensonga ezimuleetera okugamba nti mu nteekateeka eyakoleddwa mwabaddemu
ensobi era kwekusalawo okukwatagana ne bannamateeka be bajulira kwebyo ebyavudde mu kukebera. Basaba okukebera DNA okunaddibwamu kukolebwe mu labalatole eyeesigika, ng’eri ku mutindo gwa nsi yonna ate nga yesigamwako nnyo kw’ebyo ebifulumizibwa ku DNA okusingira ddala efunibwe mu ggwanga lya
Amerika. Kikakasibwe ng’enkola egobereddwa ekkiririzibwamu, yetengeredde era
tebuusibwabusibwa.
Ekiruubirirwa kye kya kulaba ng’amazima gazuuka n’abaana be okubeera obulungi
era ng’enkola ennambulukufu bwenagobererwa ejja kuggyayo amazima