Bya Nelson Kiva
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola amakampuni ga yinsuwa mu Uganda ekya Insurance Regulatory Authority (IRA) kisabye amakampuni okukozesa tekinologiya omupya okulaba nti mpeereza zaabwe zituuka ku buli muntu.
Okusinziira ku kitongole kino, amakampuni gano galina okwongera amaanyi mu busobozi bwago okusobola okutambula ne nkyukakyuka ezirimu mu tekinologiya kibasobozese okukyusa mu mpeerza zaabwe.
Ng’ayogera mu mukolo gw’okukuza emyaka 30 egya GoldStar Insurance Company ogwabadde ku Kabira Country Club mu Kampala , omukulu w’ekitongole kya IRA avunaanyizibwa ku kulondoola amakampuni, Bernard Obel, yagambye nti amakampuni ga yinsuwa gatunuulira emyaka egidakko ng’o mukisa gw’obuweereza obulungi
Alabudde nti tekinologiya, enkyukakyuka mu byetaago by’abakasitoOma, obukuumi bw’enkola za kompyuta (cybersecurity) n’obulabe obupya mu by’enfuna birina okutunuliRwa ennyo.
“Nga tukuza eby’emabega, tulina okwetegekera ebiseera eby’omu maaso,” Obel bweyategeezezza.
Kino kyayambibwa enkola ennungi mu by’obwannannyini bw’ebizimbe n’ebyuma, entambula n’ebintu ebirala eby’obusuubuzi,” Kawuma bwe yagambye.
Kawuma yagambye nti kampuni egenda kwongera okuteeka ensimbi mu tekinologiya, enkola z’okuddukanya amakampuni, obukugu bwa AI, okutendeka n’okukulaakulanya abakozi, awamu n’obukuumi bwa kompyuta.
“Obweyamo bwaffe kwe kwongera okuteeka ensimbi mu mpeereza za tekinologiya n’obukugu obulala obuyinza okutuyamba okuddamu eri ebyetaago by’abakasitoma baffe ebikyukakyuka,” Kawuma bwe yagambye.
Omumyuka wa ssentebe wa board ya GoldStar, Sudhir Ruparelia, yagambye nti enkulaakulana kampuni gy’etuseeko mu myaka 30 tewandibaddewo awatali bakasitoma baayo, be yatendereza olw’okwesiga kampuni.